Ebitongole By’obwannakyewa (NGO) Birabuddwa ku Kukolera mu Nkukutu

1 minute, 10 seconds Read

Bya Tonny Evans Ngabo

Ebitongole by’obwannakyewa (NGO) ebikakkalabiza emirimu mu disitulikiti y’e Wakiso birabuddwa okwewala okukozesa mu nkukutu ekituusa n’okuteeka eby’okwerinda by’eggwanga ku bunkenke. 

Okulabula kuno kukoleddwa akulira abakozi BA gavumenti mu disitulikiti y’e Wakiso  Alfred Malinga bw’abadde asisinkanyebab’ebitongole by’obwannakyewa eby’enjawulo ebikolera mu Wakiso ku ttabamiruka waabwe afundikira omwaka.

Malinga agambye nti oluvannyuma lwa gavumenti okuteeka omukono ogw’ekyuma ku bitongole by’obwannakyewa olw’okutyq nti ebimu engeri gye byali bikolamu yali emenya amateeka, nga n’ebimu ku bino byaggalwawo, ebisinga obungi byasalawo okutandika okukolera mu nkukutu nga kino agambye nti kimenya mateeka.

Ono asabye bannakyewa bano okugoberera amateeka okusinga okwekweka nga bakola emirimu mu nkukuttu nti yenna gwe banaakwatako kaakumujjuutuka.

Ye ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso Dr. Matia Lwanga Bwanika ategeezezza ng’ebitongole by’obannakyewa bwe biyambye disitulikiti mu nsonga nnyingi omuli okutumbula eby’obulamu mu by’enjigiriza era n’abisaba okwekolamu omulimu bakwatte ku nsonga ez’enjawulo okusinga ate okubeera mu buwereza obufaanagana.

“Twesanze nnyo nga tulina NGO ezisoba mu 100 nga zikola ku nsonga y’emu oluusi ne mu bitundu bye bimu, n’abantu be bamu. Eky’akabi ate ng’eriyo ebitundu ebiri obubi nga tebikoleddwako wadde. Nga miyita mu kibiina kino mwe mwegattira, mutuulenga mukkaanye ku buweereza bwe mulina okuwa abantu n’ebitundu mwe mulina okukolera. Musobole okukwata ku nsonga ez’enjawulo,” ssentebe bwe yategeezezza.

Bannakyewa nga bakulembeddwa ssentebe w’omukago gwabwe ogwa Wakiso District NGO Forum Ofwono Leonard bagamba nti waliwo n’ebitongole ebikunukkiriza mu 3000 bikolera mu disitulikiti eno naye nga bakyaganye okuvaayo babeegatteko okusobola okusitula eddoboozi erya wamu.

 

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *