Sserunkuuma eyasse Lwomwa, ku kkono y'emmotoka mwe baamukubidde amasasi.

Wuuno Omusajja Eyasse Omukulu W’ekika Ky’Endiga

1
1 minute, 13 seconds Read

Ekifaananyi ky’omusajja Enock Sserunkuuma agambibwa okukuba amasasi agasse omukulu w’ekika ky’endiga kizuuse. Sserunkuuma yattiddwa abantu oluvannyuma lw’okukuba amasasi Omutaka w’ekika ky’Endiga, Lwomwa Ying. Daniel Bbosa.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, yagambye nti Sserunkuuma yabadde mutuuze w’e Lungujja mu divizoni y’e Lubaga mu kibuga Kampala.

Abatuuze mu kitundu gye yali abeera e Lungujja baategeezezza ab’amawulire nti ono yasenguka ku kyalo kino n’agenda adda mu kuvuga bodaboda nga babadde tebamanyi wa gye yasengukira.

Sserunkuuma yali ne munne Noah Luggya ng’ono yasimattuka n’ebisago eby’amaanyi ng’ono mu kiseera kino ali mu ddwaliro e Mulago poliisi gy’emuweeredde obukuumi nga bw’afuna obujjanjabi.

Enanga yagambye nti Luggya yatwaliddwa ne bamuteeka mu ssikaani ne bamukebera omutwe ne bazuula nga teyafuna buzibu ku mutwe bwonna.

Yagambye nti ono bamulinda awone olwo asobole okuttottola akana n’akataano ku ttemu lino.

Ying. Bbosa yakubiddwa amasasi agaamuttiddewo ku Ssande olw’eggulo e Lungujja bwe yabadde ava e Katosi mu disitulikiti y’e Mukono okulambula ku bazzukulu be.

Abatemu baamukubidde Lungujja kinnya na mpindi n’amaka ge ku ssaawa nga kkumi n’emu n’ekitundu ez’olw’eggulo.

Enteekateeka z’okumuziika zigenda mu maaso wabula ng’obwakabaka bwategeezezza nti ng’ono tannaziikibwa, baba balina kusooka kuteekako Lwomwa mulala kuba entebe y’omukulu w’ekika kyonna mu Buganda terina kubeerera awo.

 

Similar Posts

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *