Embeera Y’omubaka Ssegirinya Eyongedde Okweraliikiriza!

1 minute, 42 seconds Read

Embeera y’omubaka wa palamenti Muhammad Ssegirinya eyongedde okutabuka ekyeraliikirizza ennyo abawagizibe ne Bannayuganda bonna okutwalira awamu.

Bano basabye abakulembeze mu kibiina kye ekya NUP ne Palamenti ya Uganda okukola kyonna ekisoboka okulaba nga bayamba ku ffamire ye okusobola okulaba ng’obulamu bwe butaakirizibwa.

Ssegirinya ali mu ddwaliro lya Agha Khan e Kenya gy’amaze akaseera ng’ajjanjabibwa ebirwadde eby’enjawulo ebimubala embiriizi.

Kigambibwa nti obuzibu asinga kubufuna mu lubuto ne mu kifuba ng’obulwadde buno bumuviiriddeko okukogga ennyo. Ebifaananyi ebikyasembyeyo okufulumizibwa abo abaagenze mu ddwaliro okumulambulako biraga nga mukovvu nnyo nga n‘enviiri ku mutwe zisenyuuse byansusso, amaaso maperuufu era atunuza bunafu na nnyiike! Amazima takyali oli Mr. Update ow’ettabbu abawagizi be gwe baali bamanyi.

Nga bayita ku mikutu egy’enjawulo gi mugattabantu (social media) abantu ab’enjawulo okuli n’abalonzi be mu Kawempe North, bano baasabye ekibiina kye ekya NUP ne palamenti bakole ekisoboka okulaba nga bamutaasa ayongerweyo bwe kiba kisoboka mu bazungu asobole okujjanjabibwa awone ave mu bulumi.

Mu ddwaliro lya Agha Khan e Nairobi Kenya akulunguddeyo kati emyezi ena naye enjawulo telabika, embeera ye eyongera kusajjuka busajjusi. Eno yatwalibwayo nga January 9, 2024 ng’embeera ye etabuse era baamutuusiza mu kasenge k’abalwadde abayi.

Wabula wadde biri bwe bityo, okusinziira ku muganda wa Ssegirinya, John Bosco Kasagga yagumizza Bannayuganda n’agamba nti omubaka kati ali yaddeyaddeko okusinga bwe yali gye buvuddeko.

Kasagga yagambye nti obujjanjabi obwetaagisa omubaka abufuna ne ssente zonna ze beetaaga palamenti ezisasula era ali mu mikono mituufu.

Kyagulanyi ne Ssegirinya mu kifaananyi bwe yamulambuddeko mu ddwaliro, ku kkono ye Maama wa Ssegirinya.

“Twebaza Bannayuganda olw’okulaga omuntu waffe omukwano n’okufaayo eri obulamu bwe. Ntwala omukisa guno okubategeeza nti embeera y’obulamu bwe kati ezzaamu ku maanyi. Asobola okutambulako n’okweriisa wadde ng’akyali munafu nnyo,” bwe yannyonnyodde.

Gye buvuddeko, akulira ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu yakyalirako Ssegirinya mu ddwaliro e Nairobi n’afulumya ekifaananyi ng’ali naye n’ategeeza ensi ng’embeera ye bwe yali agenze ng’etereera.

*Source – Bukedde Olupapula*

The post Embeera Y’omubaka Ssegirinya Eyongedde Okweraliikiriza! appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *