Kabaka Ali Bweru Afuna Bujjanjabi-Kayikkiro

0 minutes, 59 seconds Read
Katikkiro ng’ayogera mu lukiiko lwa Buganda.

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ategeezezza Obuganda nti Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II ali bweru ggwanga gye yagenda okufuna obujjanjabi. 

Katikkiro ategeezezza nti Nga March 21, 2024, Kabaka yagenda ebweru w’eggwanga okufuna obujjanjabi wabula ng’embeera y’obulamu bwe tennamusobozesa kukomawo kuba abasawo be bakyetaaga okumwetegereza engeri omubiri gye gutambuliramu ku bujjanjabi obumuweebwa.

Olukiiko lwa Buganda nga lugenda mu maaso ku Bulange e Mengo.

Bino Katikkiro Mayiga abyogeredde mu lukiiko lwa Buganda olutudde enkya ya leero mu Bulange e Mengo.

Ebigambo bya Katikkiro by’awandiise Ku mukutu gwe owa X;

“Nzizeemu okutegeeza Obuganda, Ssaabasajja Kabaka akyali bweru wa Ggwanga gye yagenda okulaba abasawo be.

Nnyinimu ajja kudda, abasawo nga bakakasiza nti embeera ye emukkirizisa okukomawo.

Mu ngeri y’emu nnyajulidde Obuganda embeera nga bw’eyimiridde mu Bwakabaka.”

Katikkiro akunze abantu mu ggwanga okusingira ddala bannabyabufuzi okukkiriza okubeeragana, bave mu kweyogerera ebisongovu n’agamba nti bino bibaswaza ng’abantu.

Ategeezezza nti obubaka buno bukwata ku balina obutakkaanya wakati w’abali mu gavumenti n’abali ku ludda oluvuganya n’abalina obutakkaanya wakati w’abavuganya gavumenti bbo bokka ne bokka.

#LukiikoLwaBuganda2024

The post Kabaka Ali Bweru Afuna Bujjanjabi-Kayikkiro appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *