Ababadde Bagenda Okubala Abantu Bagudde ku Kabenje-Omu Amenyese Okugulu

1 minute, 13 seconds Read

BYA TONNY EVANS NGABO

Abantu babiri be bapooca n’ebiwundu oluvannyuma lw’okugwa ku kabenje bwe baabadde bakedde okugenda mu bifo gye baagabiddwa okukolera. Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza ku Lwokutaano, ekyatuumiddwa Census Night.

Kyategeerekese nga bano baatomeddwa mmotoka ekika kya Canter etaategeerekese nnamba  bwe yayambalaganye ne lukululana  okukakana nga ebalubye ku mabbali g’ekubo gye baabadde batambulira n’ebasaabala.

Akabenje kano kaaguddewo mu bitundu by’e Kakiri  okuliraana  essomero lya Biral Muslim Primary School. Abakoseddwa ye Matovu Swaibu (29) nga mutuuze w’e Kakooge Half London nga yamenyese okugulu wamu ne Esau Kasigalire (33)  omusomesa ku ssomero lya St Kizito Primary School Bugwanya nga naye mutuuze mu kitundu kye kimu.

Bano baddusiddwa mu ddwaliro lya St Joseph Hospital e Wakiso gye bali mu kufuna obujjanjabi wakati mu bulumi bwe balimu.

Esau Kasigalire omusomesa ku ssomero lya St Kizito Primary School naye eyalumiziddwa mu kabenje.

Wabula mu bitundu ebisinga obungi okubala  kwatandise  kikeerezi nga abamu ku bali ku mulimu guno baategeezezza Kyaggwe TV nti ebimu ku biviiriddeko okulwawo okutandika y’ensonga ya bakuuma  ddembe wamu ne bassentebe b’ebyalo okubeera nga balinga ababadde batamanyi kigenda mu maaso  nga kw’otadde  n’ebimu ku bikozesebwa ebyaluddewo okutuuka ku bantu abagenda okukola omulimu guno.

Zalinda Tonny supervisor ku kyalo kya Kisimbiri mu Wakiso TC yategeezezza nti ebimu ku byuma (IPAD) byabawadde obuzibu nga tebitandika, ebirala nga tebirina network n’ensonga endala nnyingi.

The post Ababadde Bagenda Okubala Abantu Bagudde ku Kabenje-Omu Amenyese Okugulu appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *