Maneja wa loogi akwatiddwa lwa kulemesa babala bantu-IPAD bbiri zibbiddwa

2 minutes, 36 seconds Read

Ab’eby’okwerinda mu disitulikiti y’e Mukono nga nga bakulembeddwa RDC Hajjat Fatuma Ndisaba Nabitaka nga bali wamu n’abakola ku gw’okubala abantu mu disitulikiti ne munisipaali y’e Mukono baliko maneja wa loogi emu gwe bakutte n’atwalibwa ku poliisi e Mukono n’aggalirwa ng’avunaanibwa kulemesa nteekateeka ya kubala bantu mu kifo kino.

Peace Namakula maneja wa Gofret Motel e Nabuti y’akwatiddwa ng’ono kitegeerekese nga bwe yagobye abakola ku gw’okubala abantu abaagenze mu kifo kye akawungeezi k’eggulo okukola omulimu gw’okubala abantu be yasuzizza mu kifo kino.

RDC n’agali n’abakungu abalala bakkaanyizza ono atwalibwe ku poliisi aggalirwe ng’avunaanibwa gwakuziyiza ba ofiisa ba gavumenti kukola mulimu gwabwe ate ogwabadde mu mateeka era nga gumanyiddwa.

Ng’ayogera eri ab’amawulire, RDC Ndisaba ategeezezza nti waliwo n’abakola ku gw’okubala abantu babiri abakwatiddwa nga babalanga kubbibwako byuma ekika kya IPAD ebyabaweereddwa okubayambako mu kubala abantu. Omu ku bakwate IPAD baagimubbiddeko mu bizinga by’e Koome ate omulala mu divizoni y’e Goma mu munisipaali y’e Mukono.

Sylvia Kyobe (ow’okubiri ku ddyo), supavayiza w’omuluka gw’e Mpoma ng’akola n’abaakoze ogw’okubala abantu okukikiitanya ppaadi nga zeeremye okukola.

Wabula mu kusooka, omulimu gw’okubala abantu mu disitulikiti y’e Mukono tegutambudde bulungi ng’ebyuma bangi ku bbo bibasumbuye nga network tebazifuna ate abasigadde nga n’okukola tebikola.

Bano kuliko be tusanze mu kyalo ky’e Kituba n’abamu abasangiddwa ku kyalo ky’e Kisowera mu woofiisi ya ssentebe nga bali ne kalabaalaba wa pulogulaamu eno ey’okubala abantu Sylvia Kyobe nga tekinologiya w’ebyuma abazannya ssatu ku mukaaga.

Bano balabiddwako nga buli omu alwana okulaba ng’ateekako IPAD ye ekole agende atandike omulimu naye nga buteerere.

Okuva ku kkono; RDC Ndisaba, Dickson Magala akulira okubala abantu mu disitulikiti ne Menisa Namukose akulira okubala abantu mu disitulikiti.

Kyobe mu kwogerako annyonnyodde obuzibu bwe basanze mu nteekateeka n’agamba nti babadde bakola butaweera okulaba nga batuuka mu bakwatibwako babayambe ku bigaanye.

Ate abamu ku be tusanze mu munisipaali y’e Mukono batetegeezezza nti IPAD zaabwe zibadde zigaanye okukola ne bazizzaayo ne babagamba bade eka bwe zinaatereera baakubakubira amasimu bakomeweo bakole. We ziweredde ssaawa mukaaga,RDC ne ttiimu ye ne batuuka ku kyalo ekimu e Nabuti gye basanze omu ku babala abantu ng’ali ku muntu gw’asookeddeko okubala ng’alabiddwa nga bimutambulira bulungi.

Dickson Magala akulira okubala abantu mu disitulikiti y’e Mukono agambye nti amagombolola 13 agakola disitulikiti y’e Mukono gaaweereddwa ababala abantu 2,259 nga balabaalaba baabwe bali 283.

Ate atwala okubala abantu owa munisipaali y’e Mukono, Menisa Namukose Kirya ategeezezza nti bawaandiise ababala abantu aba divizoni y’e Goma 440 ate aba Mukono Central 349. Okusinziira ku mawulire agava mu bakuliddemu enteekateeka eno, amagombolola okuli Koome ne Seeta Namuganga enteekateeka eno teyatambuliddeko ddala.

Peace Namakula (ku ddyo) maneja wa Gofret Motel e Nabuti akwatiddwa olw’okulemesa ababala abantu mu loogi ye.

Abamu ku baakoze ku kubala abantu ku kyalo ky’e Kituba mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono nga basobeddwa ebyuma bigaanye.

The post Maneja wa loogi akwatiddwa lwa kulemesa babala bantu-IPAD bbiri zibbiddwa appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *