Minisita Mayanja Alagidde Ssaabalabirizi Kazimba Okumenyawo Ekkanisa Eyazimbibwa ku Ttaka Erikaayanirwa Abatuuze-Ekkanisa Emwanukudde!

2 minutes, 20 seconds Read

Minisita omubeezi ow’eby’ettaka Sam Mayanja alaze obutali bumativu olw’ekkanisa okumenya amayumba g’abatuuze n’okusendawo ebibanja byabwe n’ezimba ekkanisa galikwoleka.

Obutali bumativu Minisita Mayanja yabulagidde ku kyalo Kirangira ekisangibwa mu Mukono Central divizoni mu munisipaali y’e Mukono abatuuze bwe baamukaabidde amaziga mu maaso nga bagamba nti omusumba atwala ekkanisa ya St. Luke e Kirangira, Rev. Rogers Kityo yakkira ebibanja byabwe n’abisendawo na buli kimu ekyaliko n’azimbawo ekkanisa.

Bino byabadde mu lukiiko olwatudde e Kirangira nga Minisita Mayanja yategeezezza nti wadde yayise enjuyi zonna okuli n’olw’ekkanisa okuziwuliriza alyoke akole okusalawo, yagenze okutuuka mu kifo kino ng’ekkanisa tekiikiriddwa ne yeebuuza ensonga lwaki bano baabadde batidde okulaga oludda lwabwe bwe baba nga bakimanyi nti batuufu.

Bbo abatuuze omuli n’abakadde baalombojjedde Minisita Mayanja ne bagamba nti Rev. Kityo yabaliisa akakanja nga teyakoma ku kumenya mayumba gaabwe na kusenda bibanja byabwe, wabula yabasibisa ne mu kkomera nga n’omu ku bbo Sarah Nakamya we yaviira mu bizibu bino nga ppuleesa zimukubye takyasobola kwogera.

 

Minisita Mayanja ng’ayogera n’abatuuze abavunaana ekkanisa okubasendera ebibanja byabwe n’okwonoona ebyabwe.

 

Robina Kizito, omu ku batuuze b’e Kirangira agamba nti ekkanisa enkadde eruddewo erina ensalo zaayo weeyitira wabula nga Rev. Kityo yazibuuka n’azimba ekkanisa empya mu bibanja by’abantu.

Eby’embi, Minisita yagambye nti kyewuunyisa okulaba ng’ekkanisa eyandibadde eyaniriza buli muntu ate ekuumibwa bakuumi ba mmundu ng’ate n’amateeka gagaana ettaka lyonna eririko enkaayana okukuumibwa abasirikale b’ebitongole by’obwannanyini era bano yalagidde ne bakwatibwa ne baggyibwa mu kifo kino.

Mayanja era yagambye nti teri muntu ka kibeere ekkanisa oba Obwakabaka bwa Buganda (BLB) akkirizibwa kugoba ba bibanja ku ttaka nga tebakkaanyizza wadde okuliyirirwa.

Na bwe kityo, yalagidde Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Stephen Kazimba Mugalu okulaba ng’amenyawo ekkanisa oba aliyirire bannanyini ttaka we yazimbibwa.

Rev. Sono ng’ayogera.

Wabula olwaleero atwala ekitongole ky’ettaka mu bulabirizi bw’e Mukono Rev. Godfrey Sono alumbye Minisita Mayanja olw’okulengezza ekitiibwa kya woofiisi ye n’atandika okweyisa nga bbulooka w’ettaka ekityoboola woofiisi ya gavumenti gy’atwala.

Sono agambye nti Minisita tabawandiikirangako ng’abayita mu lukiiko nga n’abagamba okuba bannanyini bibanja ku ttaka baayogedde na mimwa tebaamuwadde buwandiike bulaga bwannanyini bwabwe sso ng’ate kkanisa yo erina obuwandiike obulaga obwannannyini bw’ettaka we yazimbibwa.

Abakuumi ba kkampuni y’obwannanyini abakwatiddwa.

Ono ategeezezza nti ng’ekkanisa wadde abatuuze baayonoonye ebintu byayo nga bakolera ku biragiro bya Minisita Mayanja, bbo bakyaliwo balinze agende amenyewo ekkanisa bw’aba amaze okufuna obukakafu nti wayazimbiddwa si waabwe.

Ku ky’abasirikale b’obwannannyini ab’emmundu ababadde bakuuma ekkanisa, Sono agambye nti teri tteeka libatangira kwewa bukuumi kuba naye nga Minisita alina abakuumi abamukuuma era teri aboogerako.

N’ono yakwatiddwa.

The post Minisita Mayanja Alagidde Ssaabalabirizi Kazimba Okumenyawo Ekkanisa Eyazimbibwa ku Ttaka Erikaayanirwa Abatuuze-Ekkanisa Emwanukudde! appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *