Abavubuka Babiri Basimattuse Okuttibwa lwa Bufere

1 minute, 39 seconds Read

Poliisi y’e Mukono eyitiddwa bukubirire okutaasa abavubuka babiri abagambibwa okudda kw’omu ku batuuze ku kyalo Nassuuti omukyala amannya agataategeerekese ne bamufera ne bamubbako esnimbibi ze eziwera ddala.

Kigambibwa nti bano oluvannyuma lw’omulundi ogwasooka okufera omukyala ono ne bibagendera bulungi, nti era abaabadde bakomyewo batandikire we baakoma olwo naye ne yeekubira enduulu abatuuze babasalako ne babakuba mizibu.

Umar Ssebuyungo omu ku baalwanaganye n’abatuuze nga beesomye baagala kutta bavubuka bano ategeezezza nti bino byabadde ku kyalo Nassuuti mu kibuga ky’e Mukono.

 

Ssebuyungo ng’alwanagana n’abatuuze abaabadde baagala okutta be baayise abafere.

Ssebuyongo ategeezezza nti wadde abatuuze naye baayagadde okumutwaliramu era nti baamuyisizza bubi nga bamulanga kulwanirira babbi.

Kyokka alabudde nti wadde olumu abantu baagala okutwalira amateeka mu ngalo, nti kino kikolwa kibi nnyo kuba emirundi mingi abattibwa ate tebaba na misango.

Ssebuyungo agamba nti n’enfunda eziwera ebikolwa eby’okutwalira amateeka mu ngalo bwe bivaamu okutta abantu embagirawo biviirako bangi okusibwa.

Abatuuze nga beebulunguludde abagambibwa okuba abafere be baakubye.

Ono ajulizza ekyatuuka ku bantu mu byalo eby’enjawulo omuli Katoogo, Waluga, Walusubi ne Ssaamuuka, abantu abali eyo mu 30 bwe baakwatibwa poliisi ku nsonga y’abateeberezebwa okubeera ababbi ba bodaboda bana abattibwa abatuuze.

Okusinziira ku muduumizi wa Poliisi owa Kampala Metropolitan East, Joab Wabwire, 13 ku bano baasimbibwa mu kkooti ne bavunaanibwa emisango gy’obutemu nga ne gye buli eno bakyawerennemba nagyo bali ku limanda mu kkomera e Luzira.

Ebikolwa eby’obumenyi bw’amateeka mu disitulikiti y’e Mukono bisusse obungi nga bodaboda zibbibwa n’abazivuga ne battibwa kyokka ng’ate bano bagamba nti poliisi tebayambye kukola bikwekweto bikwata batemu olwo bbo besigala nga bali ku bunkenke lwe bakeesa lwe babala.

N’ebikolwa by’okumenya amayumba, amaduuka n’okubba ebisolo mu byalo nabyo be baana baliwo mu kiseera kino.

Ate bwe gutuuka ku bufere, bano bagamba nti bano bakola kyere ng’ate abamu ku bbo bwe bakwatibwa ne batwalibwa ku poliisi babata nga tebabugumizzaayo na mbooge.

 

 

 

 

The post Abavubuka Babiri Basimattuse Okuttibwa lwa Bufere appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *