Ab’eby’okwerinda Basattizza Abakedde Okugenda Okusaba mu Makanisa e Nansana

1 minute, 3 seconds Read

Waabaddewo obunkeke ku Ssande ku makya ab’eby’okwerinda ab’alwanyisa obutujju n’okutega bbomu bwe baasanzeeko amakanisa ag’enjawulo mu bitundu mu munisipaali y’e Nansana nga bateebereza nti wandibeerawo abaagatezeemu bbomu.

Bano baalemesezza abantu abaabadde bakedde okugenda mu kusaba okuyingira mu makanisa ne bagasalako n’embwa ezikonga olusu ne bayaza buli wamu ng’embeera eno yatadde abakkiriza ku bunkenke n’abasumba abatwala amakanisa ago.

Emu ku makanisa ab’eby’okwerinda gye baasazeeko e Nansana.

Mu bamu ku baakoseddwa olw’embeera eno ye Pr. Wilson Bugembe owa The Worship House e Nansana n’abagoberezi be nga yategeezezza nti ab’eby’okwerinda baamukubidde amasimu mu kiro ne bamutegeeza nga bwe waliwo abatujju abateeberezebwa okuba nga beekwese mu kkanisa oba nga baatezeemu eby’okulwanyisa era ne bamugaana okugiggulawo eri abantu okusabiramu ku Ssande ku makya okutuuka nga bamaze okugyekebejja naye kye yagondedde.

“Bantadde ku bunkenke ne ndowooza bingi nnyo! Ndi musanyufu nti ab’eby’okwerinda bazze ne bayaza nga tetubakubye ku mukono ne batabaako kye bazuula kati bamaze ogwabwe era batutadde,” Pr. Bugembe bwe yategeezezza.

Amakanisa amalala ge baatalaaze kuliko; St. Stephens Church e Nansana, ne St. Joseph e Nansana wabula nga yonna tebalina kye baaziddeyo.

 

The post Ab’eby’okwerinda Basattizza Abakedde Okugenda Okusaba mu Makanisa e Nansana appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *