Ensonga za Minisita Sam Mayanja Okuzza Ab’ebibanja ku Ttaka e Mukono Ziwanvuye-Bookezza Emmotoka za Nnannyini ttaka Bbiri

2 minutes, 46 seconds Read
Omukadde Kavambere n’abamu ku basibe mu kaguli ka kkooti e Mukono.

Wadde Minisita omubeezi ow’eby’ettaka yavaayo ne yeegaana eky’okuzza ku ttaka ab’ebibanja n’okubakumamu omuliro okwonoona ebintu by’ekkanisa n’eby’abantu abalala okuli ery’ekkanisa ya St. Luke Town Church Kirangira mu munisipaali y’e Mukono ne ku ttaka ly’omugagga Dick Israel Banoba ku byalo okuli Kirangira ne Lwanyonyi, abeeyita ab’ebibanja bakyagenda mu maaso n’okukola effujjo si ku kkanisa yokka wabula bagenze n’ewa Banoba.

Bano baayokezza emmotoka bbiri okuli ne Benz, basse enkoko ezaaweredde ddala, baayonoonye ennyumba n’okubba embuzi n’embaata. Kuno baagasseeko okusenda ettaka lya Banoba nga bakozesa ttulakita ne boonoona ebintu ebiwerako.

Bano okukola effujjo lino kyaddiridde omukadde Rose Kavambere atemera ku gy’obukulu 80 eyeekubira enduulu ewa Minisita Sam Mayanja ng’agamba nti nnannyini ttaka Banoba yali amaze ebbanga ng’abayigganya okuli n’okubagoba ku bibanja byabwe.

Bwe yagenda ku ttaka ly’e kkanisa ya St. Luke e Kirangira nga May 16, 2024, Mayanja yalagira Kavambere okudda ku kibanja kye n’agamba nti teri alina lukusa kugoba wa kibanja kuva ku kibanja kye. Yagamba nti k’ebeere ekkanisa, Ssaabasajja, oba omugagga ffugge, teri akkirizibwa kugoba ba bibanja.

Bwe yadda ku kibanjakye, abasirikale okuva mu maka g’obwa pulezidenti abalwanyisa enguzi aba State House Anti-Corruption Unit baamukwata n’abantu abalala 13 nga bano ku Lwokutaano baasimbiddwa mu kkkooti ne bavunaanibwa emisango egy’enjawulo omuli okusaalimbira ku ttaka eritali lyabwe, okwekobaana ne bazza emisango n’emirala.

Nga bano batwalibwa mu kkooti, abatuuze beekumyemu ogutaaka emisana ttuku ne bagenda balumba ffaamu y’omugagga Banoba ng’ono yafa era Namwandu Ruth Banoba n’abakozi be baagudde ku kyokya nga bano abaabadde mu kibinja nga babagalidde amajambiya n’emiggo baabazinzeeko ne bakuma omuliro ku mmotoka bbiri okuli ne Benz, okutta enkoko omuli n’ezaabadde zibiika endala ne bazibba, okubba embuzi n’embaata ssaako okukoonakoona endabirwamu mu nnyumba.

Ebiggya aba Kavambere bye baazimbye mu ttaka lya Banoba we bagamba nti kyali kibanja kye.

Bano tebaakomye okwo, baliko n’amalaalo ge baazimbye mu kifo kye bagamba okubeera ekya Kavambere wabula nga ng’omukozi wa Banoba ategeezezza nti wano tewabangawo ku malaalo nga bano baasibye kiwaani ng’enjogera y’ennaku zino bw’egamba.

Oluvannyuma lw’ebyo okubeerawo, ab’akakiiko ka State House Anti-Corruption Unit kazzeeyo ne bayoola abantu 30 abagambibwa okubeera emabega w’obulumbaganyi buno era bano batemeza mabega wa mitayimbwa ku poliisi e Mukono nga balinze okugasimbagana n’omulamuzi ng’okunoonyereza ku musango gwabwe kuwedde.

Ruth Banoba omusango agutadde ku Minisita Mayanja gw’agambye nti ye yakuma mu bantu omuliro ng’abalagira okudda ku bye bayita ebibanja byabwe nga tamaze na kuwuliriza njuyi zombi.

Abasibe Rose Kavambere n’abalala 13 mu kkooti.

Banoba era agamba nti ettaka ab’ebibanja lye balumiriza nti lyabwe ewaazimbibwa ekkanisa, ye ne bba be baaliwa ekkanisa nga n’ekitundu kino kikyali matongo tekunnasenga bantu bagamba nti balinawo ebibanja.

Bano basabye gavumenti okubawa obukuumi nga bagamba nti okuleka ebintu ebyayonooneddwa, n’obulamu bwabwe mu kiseera kino buli mu matigga.

Ye Kavambere ne banne baasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka mu kkooti e Mukono Racheal Nakyazze eyabasomedde emisango egy’enjawulo n’abasindika mu kkomera e Kauga okutuusa nga June 6 lwe banaakomezebwawo mu kkooti.

 

 

The post Ensonga za Minisita Sam Mayanja Okuzza Ab’ebibanja ku Ttaka e Mukono Ziwanvuye-Bookezza Emmotoka za Nnannyini ttaka Bbiri appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *