Eby’akakiiko Akagaba Emirimu aka Disitulikiti y’e Mukono Biremesezza Okuyisa Bbajeti-Ssentebe Bakaluba Kkanso Agyebalamye

5 minutes, 42 seconds Read

Ensonga z’akakiiko akagaba emirimu aka disitulikiti y’e Mukono (District Service Commission (DSC) ) zirinnye enkandaggo, bakkansala bwe beekumyemu ogutaaka ne bagaana okuyisa bbajeti y’omwaka 2024/2025 okuleka ng’akakiiko kano kateekeddwawo ng’amateeka bwe galambika.

Emyaka gisobye mw’esatu bukyanga kakiiko akakadde akagaba emirimu kaggwako kyokka kaweefube alonda akakiiko akapya mu bbanga lino lyonna azzenga agwa butaka. Disitulikiti efiiriddwa obuwumbi bw’ensimbi obukunukkiriza mu 10 ezandibadde zisasula abakozi abapya abataliiwo nga zino buli mwaka gwa byansimbi lwe guggwako zizzibwayo mu kittavvu ky’eggwanga ne zikola ebirala.

Mu kiseera kye kimu, n’abaana bangi abandibadde bafuna emirimu nga baasoma naye ebiwandiiko byabwe biri kkabada bigendako nfuufu nga bbo eky’okulya bakinoonyeza mu mu kiwato nga mazina olw’obutaba na mirimu wadde nga kkwo okusoma baasoma nga n’egyo egya disitulikiti gye baalinamu essuubi okukola tebasobodde kugufuna olw’ebbula ly’akakiiko akagaba emirimu akataliiwo.

Sipiika wa kkanso y’e Mukono, Betty Hope Nakasi ng’ali mu mitambo gya kkanso.

Wadde ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Rev. Dr. Peter Bakaluba Mukasa yabadde asuubirwa okubeera mu kkanso y’olwaleero annyonnyole ensonga eno wa w’etuuse, ono kkanso eno agyebalamye era talabikiddeeko ddala.

Kkanso ebadde ekubirizibwa obukubiriza waayo, Betty Hope Nakasi nga n’atwala ensonga z’abakozi ba gavumenti, Elizabeth Namanda naye agyetabyemu.

Bakaluba abadde asuubirwa mu kkanso okunnyonnyola akawonvu n’akagga ku nsonga ez’enjawulo ze yakoonako mu kwogera kwe okunnyonnyola embeera nga bw’eyimiridde mu disitulikiti ekimanyiddwa nga ‘State of the District Address’ kwe yakola mu kkanso ewedde wabula ono takubiseeko kya mulubaale.

Okuva ekisanja kino kitandika, disitulikiti y’e Mukono tebeeranga na kakiiko kagaba mirimu ng’enfunda ze kazze kalondebwa, kazze kalemesebwa ensonga ez’enjawulo omuli n’eya ssentebe okusimbira omu ku baali bakalondeddwako, Stella Margaret Kiondo amanyiddwa ennyo nga Hajjati Sharifa Ssebunya ng’agamba nti ono mu kisanja ekya DSC eyayita kye yali ssentebe waayo, yeenyigira mu migozoobano mingi omwali n’okulya enguzi.

Mu kkanso, sipiika Nakasi ategeezezza nti ssentebe Bakaluba yamuwandiikidde ng’asigira omumyukawe Hajji Asuman Muwummuza okukola obuvunaanyizibwa bwonna bwe yandikoze era naye tabadde mubi n’amuwa ekyanya okunnyonnyola ku byali mu kwogera kwa Bakaluba nga n’ensonga ya DSC mw’agitwalidde.

Wabula enyinyonnyola ya Muwummuza bakkansala mu buteesalamu tebagimatidde ne bagenda mu maaso n’okumusoya kagyogiggyogi w’ebibuuzo n’okulaga obutali bumativu mu mukamaawe okufiiriza disitulikiti obwenkanidde wano.

Kkansala Emmanuel Mbonye ng’atuusa ensonga ze mu kkanso.

Emmanuel Mbonye omu ku bakkansala ategeezezza nga yo kkanso bw’ekoze buli kisoboka okulaba ng’ensonga eno egonjoolwa, kyokka mu bbanga lino ery’emyaka esatu, ssentebe Bakaluba akoze kyonna ky’asobola okulaba ng’alemesa akakiiko kano okulondebwa ng’amateeka bwe galagira.

“Nga disitulikiti tetulina basomesa bamala, tetulina basawo bamala, abakozi ba gavumenti mu bitongole eby’enjawulo omuli n’akulira eby’obulamu taliiwo, nga Dr. Stephen Mulindwa ekifo ky’alimu akuuma kikuume kuba takakasibwanga ng’akulira eby’obulamu ajjudde, abakozi bangi abakaddiye ebifo byabwe ne bisigalira awo sso nga n’abalala bafudde naye tetulina kakiiko kujjuza bifo ebyo,” bw’ategeezezza.

Mu kwanukula, omumyuka wa Ssentebe Muwummuza ategeezezza nti kkooti enkulu yalina emisango egyawawaabulwayo ku nsonga ya kakiiko kano aka DSC era gino gyasalibwa mu March w’omwaka guno era kkooti n’ebeerako ebiragiro bye yawa.

“Omusango gw’omu ku batuuze gwe yawaaba kkooti yagugoba ng’egamba tegwalina nsa, ate ggwo Kiondo gwe yawaaba n’egusala n’eragira omuwaabi ssentebe wa disitulikiti ne disitulikiti bamuliyirire. Wabula okuva omusango lwe gwasalibwa n’okutuusa olwaleero tulinze ku nsonga eyo Kiondo atulage ssente ze yasasaanya mu musango olwo asobole okuliyirirwa naye abadde takikolanga.

Kkooti era yalagira nti disitulikiti eyise erinnya lya Kiondo era eriweereze mu Minisitule ya Public Service akakasibwe ku kakiiko olwo akaiiko katandike okukola emirimu wadde ng’ebyo bibadde tebinnakolebwa nga tukyalinze Kiondo asooke etubuulire ssente z’abanja disitulikiti ne ssentebe Bakaluba ezaava mu musango olwo tulabe bwe tumuliyirira,” Muwummuza bw’ategeezezza n’agamba nti era Bakaluba yawandiikira ne sipiika Nakasi ng’amugamba okuyita kkanso mu April ky’ataakola.

Wabula okuddamu kw’ono kwongedde kusikuula mmeeme za ba kkansala ne sipiika Nakasi ne bamwanukula nga balaga obutali bumativu mu kunnyonnyolakwe.

Rev. Dr. Peter Bakaluba Mukasa, ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono.

Nakasi ategeezezza nti kituufu ssentebe Bakaluba yamuwandiikira ng’amusaba ayite olutuula lwa kkanso asobole okuleeteramu erinnya lya Kiondo, naye kye yakola n’ayita kkanso mu mwezi gwe gumu kw’ogatta n’eno eya leero naye nga mu zonna talinaako gye yaleeteramu linnya.

“Ssentebe ky’ogamba nti oyagala okuleka kkanso gye twalina mu gw’okuna n’eno eya leero mw’otaleetedde linnya kkooti lye yakulagira, ate tuyiteyo kkanso endala ey’enjawulo mw’onaaleetera erinnya eryo! Mutukoze bubi nnyo ku nsonga eyo olw’obutalumirirwa bantu baffe,” Nakasi bw’agambye.

Ye Mbonye alambuludde nti ensonga Bakaluba gye yeesibako ey’okuliyirira Kiondo terina bw’ekwata ku kkanso butereevu ng’ogwa kkanso gwali gwa ssentebe kubaweereza linnya lya Kiondo nga kkooti bwe yamulagira olwo nabo baliyise, sipiika awandiikire minisitule ya public service agiweereze erinnya lya Kiondo n’amalala agakkirizibwa edda olwo akakiiko kabeerewo mu mateeka katandike okukola emirimu.

Ono ayongedde okutegeeza nti kkanso yatuuka n’okuyisa ekya disitulikiti okukozesa akakiiko k’emu ku zi disitulikiti ezibali okumpi gamba nga Buikwe, Kayunga oba Buvuma, kaweebwe obuvunaanyizibwa okuwandiika abakozi olwo disitulikiti ebizibu by’efumbekeddemu eby’abakozi abatamala bisobole okugonjoolebwa naye byonna bikyagaanye okukola.

Ono afundikidde asaba kkanso eno eteekewo akakiiko akabuuliriza ku nneeyisa ya ssentebe ku nsonga y’akakiiko kano. Wabula sipiika asabye Muwummuza nti olw’okuba mukama we Bakaluba yamuwadde obuyinza bwonna, abawe erinnya lya Kiondo kkanso eriyise ensonga eve mu ddiiro ne bakkansala ne bakiwagira.

Wabula mu kwanukula, Mwummuza yeeremye n’agamba nti ekyo okusooka tekibadde ku lukangagga lwa biteeso eby’okuteesebwako ate ekirala tekiri mu byamulagiddwa kukolebwa.

Wano sipiika Nakasi w’asindikidde kkanso mu kuwummulamu okw’eddakiika 40 n’awa Muwummuza obudde okukubira Bakaluba essimu amuwe obuyinza okutuukiriza kkooti kye yamulagira eky’okuleeta erinnya lya Kiondo ensonga eyo naye eve mu ddiiro.

Hajji Asuman Muwummuaz, amyuka ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono ng’attaanya ensonga mu kkanso.

Kyokka ne bwe bakomyewo mu kkanso, tewabadde kyamaanyi kikyuseeko oluvannyuma lwa Muwummuza okutegeeza nga bw’akubye ku ssimu za Bakaluba zonna nga teziriiko.

Ono asabye kkanso ebawe obudde okwongera okwetegereza ensonga eno okutuusa mu mwezi gwa June. Nakasi naye eby’okwongerayo kkanso wano waabikomezza n’agamba nti eriddamu okutuula mu mwezi gwa June nga ssentebe yeetegese okukola ekyo ekyamulagirwa kkanso.

Eby’embi kwe kuba nti disitulikiti erina obudde obugere obugiweebwa okuyisizaamu embalirira ng’era ssinga obudde obwo buggwako, eba eggya kugwa mu bizibu oluusi n’okummibwa ensimbi mu mwaka gw’eby’ensimbi oguddako oba minisitule y’eby’ensimbi okweddiza obuvunaanyizibwa nga y’emanya by’enaaba eyagala okuteekamu ensimbi ebirala by’etayagala ng’ebireka.

Kino kiba kyabulabe nnyo era teri disitulikiti yandiyagadde kukilozaako kyokka disitulikiti y’e Mukono erabika eno gy’eyolekedde. Disitulikiti eba erina okuyisa embalirira ng’omwezi gwa May tegunnaggwako.

 

The post Eby’akakiiko Akagaba Emirimu aka Disitulikiti y’e Mukono Biremesezza Okuyisa Bbajeti-Ssentebe Bakaluba Kkanso Agyebalamye appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *