Kalebule Agobezza Kkansala wa NUP mu Kkanso e Mukono

2 minutes, 19 seconds Read

Kkansala wa NUP akiikirira Nakifuma-Naggalama TC mu kkanso ya disitulikiti y’e Mukoni agudde ku kyokya amakya ga leero, omukubiriza wa kkanso Betty Hope Nakasi bw’abimusibidde ku nnyindo n’amulagira afulume ng’entabwe eva ku kutambuza kalebula gw’agambye nti taliiko mutwe na magulu.

Nakasi asoose kutegeeza kkanso etude ku kitebe kya disitulikiti y’e Mukono nga kkansala Bernard Ssempaka bwe yawandiise ekiwandiiko n’akitambuza ku mitimbagano ng’alaga nga bakkansala mu kkanso naye mw’atuula bwe baabadde babayigise egyogya mimiro kya mitwalo 50 buli omu okusobola okubakkirizisa okuyisa bbajeti ya disitulikiti ey’omwaka gw’ebinsimbi ogujja 2024/2025.

Sipiika wa kkanso y’e Mukono, Betty Hope Nakasi ng’ali mu mitambo gya kkanso.

“Ssaabawandiisi w’ekibiina kya NUP nange mwe nva, David Lewis Lubongoya yankubidde essimu ng’ambuuza ku kiwandiiko kya Ssempaka ekyabadde kiraga nga bwe bwe baatuwadde enguzi ya mitwalo 50 buli omu okusobola okuyisa bbajeti, eky’okumuddamu nnabadde ssikimanyi kuba ng’ekiwandiiko ekyogerwako nga nakyo mpulira kiwulire,” Nakasi bw’ategeezezza kkanso.

Ono awadde Ssempaka omukisa okunnyonnyola ku kiwandiiko kino alage n’ani eyawadde bakkansala ssente ze yayogeddeko na nsonga ki eyazibaweesezza.

Ewatali kwesisiggiriza, Ssempaka aweereddwa akazindaalo n’alinnya akatuuti n’atandika okutuula mu bigambo kiyite kalebule.

Ekiwandiiko kkansala kye yawandiise sipiika Nakasi ky’ayise kalebule.

“sipiika gye buvuddeko yategeeza kkanso nga bw’atakolera ku bigambo bitambulizibwa ku social media ng’akola emirimu gya kkanso. Ekirungi ayogedde bulungi nti ekiwandiiko kyange nnakitadde ku social media, kati ate yeefukuludde ddi okutandika okutambuliza emirimu gya kkanso ng’asinziira ku bigambo ebibungeesebwa ku mikutu egyo gi mugatta bantu.

Nsaba kimu, sipiika bw’aba alina kkopi ey’ekiwandiiko ky’ayogerako nga yamuweereddwa mu butongole, olwo anteeke ku nninga okunnyonnyola gw’ayise kalebule. Ewatali ekyo, siri mwetegefu kumala budde bwa kkanso nga nyinyonnyola ku kalebule wa social media, weebale nnyo Honalebo sipiika…” Ssempaka bw’annyonnyodde.

Kkansala Ssempaka mu kkanso.

Nga ky’aggye ateeke wansi akazindaalo nga tannabugumya na mbooge mu ntebe ye, Sipiika Nakasi amwambalidde n’amunenya okutandika okusala ebigambo n’okuttattana erinnya lya kkanso.

Ono gye biggweredde ng’amugobye mu kkanso okumala entuula bbiri ng’atanika n’olwa leero. Ono ‘Sargent at Arms’ amulumbye n’amulagira okusituka mu kkanso afulume. Wadde asoose kwesisiggiriza, Ssempaka amaze n’agonda n’asituka ng’agenda bw’ayogera obutonotono n’afuluma era ebiddiridde mu kkanso alumise birumike ng’asinziira bweru wa kkanso.

Nakasi alabudde bakkansala abasigadde okutwala Ssempaka ng’eky’okulabirako n’agamba nti bbo ng’abantu ne kkanso mwe bakiika balina ekifaananyi eky’okukuuma nga teri nsonga lwaki abantu abeenoonyeza ebyabwe batandika okuttattana amannya gaabwe n’ekifaananyi kya kkanso.

“Lwaki bandituguze emitwalo ataano gyokka nga kkansala Ssempaka bwe yawandiise, ani yamugambye nti tuzitowa mitwalo ataano gyokka. Lwaki tebaatuguze bukadde bubiri, busatu oba butaano… tetugenda kukkiriza muzannyo nate,” bw’agambye.

The post Kalebule Agobezza Kkansala wa NUP mu Kkanso e Mukono appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *