Essaza Ly’e Kyaggwe Liyungudde Ttiimu Kabiriiti mu Z’amasaza

1 minute, 17 seconds Read

AGAFA MU NKAMBI Y’ESSAZA LY’E KYAGGWE – THE BUKUNJA WARRIORS

Essaza ly’e Kyaggwe limaze okuyungula ttiimu kabiriiti okwanganga amasaza amalala mu mpaka z’omupiira ogw’amasaza ezinaatera okuggyibwako akawuuwo.

Mu kiro ekyakeesezza ku Lwokubiri, abazannyi ba ttiimu eno amanyiddwa nga Bukunja Warriors abazannyi baayo bonna baatadde omukono ku ndagaano ezigenda okubafuga mu mpaka zino ssizoni eno.

Ebitonotono ebikwata ku bazannyi ba kabiriiti ab’essaza ly’e Kyaggwe;

  1. SSENTONGO HASSAN, ng’ono yali musaale nyo okuyamba ya Mituba Ena Kawuga okuwangula Ssekiboobo Cup, nga yali azanyiddeko Kyaggwe n’amasaza amalala.
  2. GAGANGA GODFREY, ono muyizi yunivasite ya UCU e Mukono era yali ayambyeko ku masaza nga Buddu okuwangula ekikopo ky’amasaza.
  3. GODFREY ARIJOLE, ono yali ayambyeko amasaza nga Bulemeezi, Busiro n’amalala okuwangula ekikopo kino.
  4. ISAAC OFOYWROTHS, ono naye muyizi ku yunivasite ya UCU era nga ono yali ayambyeko amasaza nga Busiro mu mwaka gwa 2022 okuwangula ekikopo n’amasaza amalala.

Olukiiko lwa ttiimu nga lukulembeddwa omumyuka wa Ssekiboobo Ow’okubiri Fred Katende, ssentebe wa ttiimu Stephen Sserubula n’abakunzi omuli Esther Nakafu, n’omuwanika Godfrey Mulindwa, omutendesi David Mutono, ssaako ow’eby’ekikugu Shadrach Nsobya n’abalala be baabadde mu lukiiko abazannyi mwe baateeredde omukono ku ndagaano.

Ekisaawe ky’essaza ky’egenda okukozesa mu mpaka zino, ekya Bishop S.S omumyuka w’olukiiko oluddukanya empaka z’amasaza ga Buganda, Samuel Mpiima yakakasizza ng’ekisaawe kino bwe kiri ku mutindo era n’akikkiriza okukozesebwa mu mbaka zino.

Empaka z’amasaza 2024 zitandika nga June 22, 2024.

The post Essaza Ly’e Kyaggwe Liyungudde Ttiimu Kabiriiti mu Z’amasaza appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *