Wuuno Omwana Ow’eby’ewuunyo, Ku Myaka 12 Azitowa Kkiro 172

1 minute, 18 seconds Read

Ebyewuunyisa nga bwe bitaggwa mu nsi, omwana Joel Mwanja Praise ow’emyaka 12 gyokka azitowa kkiro 172. Wadde bazadde be tebaasooka kutegeera buzibu mu bulamu bwe okuyimbulukuka mu ngeri etategeerekeka, bano oluvannyuma baakizuula nti buno bulwadde era bagamba embeera gy’ayitamu si nnungi.

Fredrick Mawanda kkooki ayamba ku Mwanja okukola dduyiro agamba nti mu kiseera kino waliwo ku kalembereza kuba yamufuna azitowa kkiro 177, ng’ebbanga ettono ly’amaze naye ng’amukozesa dduyiro afunyeewo ku kalembereza.

Mwanja mutabani wa Margaret Nabatanzi ng’ono agamba nti mutabaniwe yatandiikiriza mpola okugejja bye batategeera n’agenda ng’asukka ku kye baali basuubira.

Nabatanzi annyonnyola nti oluvannyuma ng’embeera yeeyongera okukyuka baabategeeza nti buno bwali bulwadde. Agattako nti bazze bafuna okusomoozebwa okuva ku bbula ly’ensimbi ezeetaagibwa ku ndabirira ya Mwanja n’obujjanjabi.

Mu kiseera kino, woofiisi ya Maama wa Buganda, Nnaabagereka Sylvia Nagginda eya Nnaabagereka Fund evvuddeyo okukwasizaako Mwanja ku nsonga z’enjawulo omuli okumuyamba okufuna obujjanjabi n’endabirira eyeetaagisa okusobola okusigala nga mulamu ng’abaana abalala ab’emyaka gye.

Owek: Choltilda Nakate Kikomeko ku lwa Nnaabagereka, yasuubiza nti baakukwasizaako ffamire eno okulaba ng’omwana ayambibwa okuva mu mbeera gy’alimu era yasabye n’abantu abalala okudduukirira bazadde b’omwana ono.

Joy Zizinga ku lwa Nnaabagereka Fund yagambye nti baakukwatagana ne bannamukago be balina mu nteekateeka ya #MentalHealthAwareness okuyamba Mwanja okuvvuunuka embeera mwali.

Dr. Hafusa Lukwata, omukugu ku ndwadde z’emitwe mu Minisitule y’Eby’obulamu yalabudde abantu ku bulwadde bw’omugejjo era n’akubirizza abantu okunyiikirira dduyiro n’okwegendereza emmere gye balya.

The post Wuuno Omwana Ow’eby’ewuunyo, Ku Myaka 12 Azitowa Kkiro 172 appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *