Omu ku Bavubuka Ababadde Bakola Ogw’obubbi Akubiddwa Amasasi Agamuttiddewo

1 minute, 34 seconds Read

BYA ABU BATUUSA

Abatuuze ku kyalo Kyebando-Nsumbi baakufuna ku buweerero oluvannyuma lw’omu ku bavubuka abateeberezebwa okuba nti babadde babasuza ku tebuukye nga bamenya amayumba n’amaduuka ne bababba okukubibwa amasasi agamuttiddewo.

Ono akubiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa mu kiro ssaawa kkumi n’ekitundu ng’obudde busasaana.

Omuvuka akubiddwa amasasi ategerekeseko lya Ronald ng’abadde avuga bodaboda ku siteegi ya Sheikh e Kyebando ng’abadde n’ekibinja ky’abagambibwa okubeera ababbi bana nga ku bano omulala omu naye akwatiddwa ng’ono amannya ye Ivan Ssekamatte amanyiddwa ennyo nga Deko nga abalala Katonda ababisseeko obusubi ne basobola okwemulula ne badduka.

Kigambibwa nti abavubuka bano babaddeko edduuka lye babadde bamenye e Kyebando ne babbamu ebintu nga Deko Ivan yasangidwa nabyo okuli TV, amasimu n’ebyuma ebisala kkufulu era ng’omusirikale wa poliisi y’akubye Ronald amasasi agamuggye mu bulamu bw’ensi eno.

Abeerabiddeko nga bino bigwawo baatugambye nga Ronald abadde ajjayo ekyuma okukikuba omupoliisi naye kwe kumukuba amasasi mu kifuba olwo banne ne babuna emiwabo ne badduka.

Omubbi akwatiddwa ng’ali n’ebizibitu by’akwatiddwa nabyo.

Abatuuze bagamba ng’obubbi bwe bucaase mu kitundu kino kubanga abasinga batemeddwa amajjambiya ne batwala ebintu byabwe nga n’olumu baasobya ku bakazi ekirindi mu nkola y’okubatiisatiisa oluvannyuma ne bababba.

Omutuuze omu agambye nga bwe babbye ku ssomero lya Hossana e Kyebando ne babba ebintu era nti musanyufu nnyo kubanga omu ku bakkondo bano attiddwa.

Ye kkansala Edward Kakooza Kamulali atunyonyodde ebibaddewo era n’asaba ab’eby’okwerinda okwongeramu amaanyi mu bikwekweto osanga obubbi bunagwamu era wano w’asinzidde n’asaba abatuuze okwongeramu amaanyi okusobola okwetangira obubbi kubanga poliisi erina abasirikale batono.

Twogeddeko nomu kubakulembezze be Nsumbi Twaha Ssekamatte atubulidde ebibaddewo engeri ababbi bwe babadde babbamu abantu era wano w’asabidde abavubuka okwenyigira mu kukola bave mu bubbi kubanga abasinga baana bato ababba abantu.

The post Omu ku Bavubuka Ababadde Bakola Ogw’obubbi Akubiddwa Amasasi Agamuttiddewo appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *