Amyuka President W’e Malawi N’abalala 9 Bakakasiddwa Okufiira mu Kabenje K’ennyonyi

1 minute, 8 seconds Read

Bannansi b’e Malawi bali mu kukungubaga oluvannyuma lw’amawulire okukakasibwa ng’amyuka Pulezidenti waabwe n’abantu abalala mwenda bwe baafiiridde mu kabenje k’ennyonyi.

Dr. Saulos Klaus Chilima kyategeezeddwa olunaku lw’eggulo gavumenti y’e Malawi bwe yafulumizza ekiwandiiko ekitongole ng’ennyonyi gye yabaddemu ey’eggye ly’eggwanga eryo bwe yabadde ebulidde mu bwengula n’etasobola kutuuka ku kisaawe ky’e Mzuzu International Airport ku ssaawa 4:02 ez’okumakya (10:02am) ze yabadde esuubirwa.

Olwaleero kikakasiddwa ng’ennyonyi eno ebadde enoonyezebwa okuva lwe yabulidde mu bwengula olunaku lw’eggulo ku Mmande nga June 10, 2024 nga Pulezidenti wa Malawi, Lazarus McCarthy Chakwera yalagidde enoonyezebwe bukubirire wabula amawulire gebamuwadde oluvannyuma lw’okugizuula ate gamukubye encukwe.

Pulezidenti McCarthy n’ennaku nnyingi alangiridde ng’omumyukawe bwe yafiiridde mu kabenje k’ennyonyi eno n’abantu abalala mwenda be yabadde nabo ku nnyonyi ne batalutonda.

Ono alangiridde okukungubaga wonna mu ggwanga nga gavumenti bw’eteekateeka okufulumya enteekateeka entongole ez’okuziika n’okukungubaga.

Obubenje bw’ennyonyi obukyasembyeyo okufiiramu abanene

Eyali akulira eggye ly’eggwanga ly’e Kenya, Gen. Francis Ogolla ennyonyi gye yalimu yagwa ku kabenje nga April 18, 2024 n’afiiramu n’abantu bonna be yali nabo.

Nga May 19, 2024, Pulezidenti w’e Iran, Ebrahim Raisi n’abakungu ba gavumenti abalala be yali nabo nabo baafiiridde mu kabenje k’ennyonyi.

The post Amyuka President W’e Malawi N’abalala 9 Bakakasiddwa Okufiira mu Kabenje K’ennyonyi appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *