Abasiraamu e Mukono Bajjumbidde Okusaala Iddi N’okusala Ebisolo

1 minute, 2 seconds Read
Abasiraamu ku Wacity Motors nga basala emu ku nte ezaasaddaakiddwa ennayama n’egabirwa abantu.

Abasiraamu bakungaanye mu bungi ku muzikiti omukulu mu kibuga Mukono okusaala Iddi oluvannyuma ne beenyigira mu kusala ebisolo.

Ng’akulembeddemu okusoma khutubba, disitulikiti Khadhi w’e Mukono, Shiekh Abas Ssenkuba Ssonko akunze Abasiraamu okwenyigira mu kukola ennyo n’agamba nti abaavu abalowooleza mu kusabiriza mu kifo ky’okukola n’ejjana tebagirina.

Amyuka RDC Mubiru ng’awa abantu abasimbye layini obuveera bw’ennyama ku Wacity Motors e Mukono.

Bano oluvudde wano buli omu agenze okwetegekera okusala ebisolo mu bifo eby’enjawulo.

Amyuka RDC w’e Buvuma, Patrick Mubiru ng’ali wamu ne bannansi ba Pakistan bakungaanyizza abantu ku kibanda kya Wacity Motors ewatundibwa emmotoka e Ntaawo mu kibuga Mukono ne basala ente bbiri ne babagabira ennyama.

Emu ku nte eyasaliddwa ku WAcity Motors e Mukono nga bagibaaga.

Mubiru akunze Bannayuganda okufuba okwagalana n’okwewala enjawukana mu ddiini wadde mu ndowooza z’eby’obufuzi.

Bano abakunze okwenyigira mu nteekateeka za gavumenti ez’okugaggawaza bannansi omuli PDM, emyooga, Operation Wealth Creation n’endala n’agamba nti kino bwe banaakikola, n’abo abatafunye busobozi busaddaka ku mulundi guno, omwaka ogujja bajja kukisobola.

 

The post Abasiraamu e Mukono Bajjumbidde Okusaala Iddi N’okusala Ebisolo appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *