Abawagizi ba Kyagulanyi N’aba Mpuuga Bakubaganye!

1 minute, 9 seconds Read

Ng’ebula ssaawa busaawa okutuuka ku mukolo gw’ekitiibwa Mathias Mpuuga okwebaza Katonda olw’ebyo by’amukoledde olunabeerawo olunaku olw’enkya ku Lwokutaano, abawagizibe n’ab’ekibiina kya NUP baalwanaganye. 

Abawagizi ba Kyagulanyi n’ekibiina ki NUP baalubye aba Kkamisona wa palamenti Mathias Mpuuga gye baabadde bakubye olukiiko olukunga abantu okubeerawo mu bungi ku mukolo gwa Mpuuga ne babasosonkereza okukakkana nga beegudde mu malaka ne balwanagana.

Olukiiko luno lwabadde ku kyalo Nakiyaga mu ggombolola ye Buwunga mu Masaka era lwabadde lugendereddwamu okukunga abantu okugenda  ku mukolo gw’okwebaza Katonda olw’obuweereza bw’ow’ekitiibwa Mathias Mpuuga wamu n’ebyo byamusobozesezza okukola.

Emikolo gyakutandika na kusaba okunabeera mu lutikko e Masala.

Kyagulanyi yafuna obutakkaanya ne Mpuuga ng’amulanga kwezibika ensimbi obukadde 500 ng’akasiimo ke beewa ne bakkamisona ba NRM basatu nga bbo baafuna obukadde 400 buli omu.

Kyagulanyi yasingisa Mpuuga omusango n’amulagira okuzzaayo ensimbi z’agamba nti yazifuna mu bukyamu n’amulagira n’okwetondera abantu ssaako okulekulira ekifo ky’obwa kkamisoona.

Wabula ebyo byonna Mpuuga byamuyita ku mutwe nga mudalizo n’agaana okuzzaayo ensimbi obukadde 500 ssaako okulekulira ekifo ky’obwa kkamiisona.

Wadde kaweefube yakolebwa ekibiina kya NUP ne kiwandiikira palamenti ne kiragira Mpuuga ave ku kifo ekyo asikizibwe Francis Zaake, bano batengejjera busa, era baatema ku lw’e Namuganga kuba sipiika wa palamenti Anita Among ebyo bye baalagira byonna yabiziimuula.

The post Abawagizi ba Kyagulanyi N’aba Mpuuga Bakubaganye! appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *