Bannakibiina kya NUP e Mukono Batutte Omubaka Nambooze Ewa IGG-Ensonga Ziva ku Nsimbi za Muwi wa Musolo

2 minutes, 42 seconds Read
Abamu ku banna NUP nga bakutte ebipande.

| KYAGGWE TV | MUKONO | Ng’ensonga y’obwerufu eteereddwa ku mwanjo ensangi zino naddala ku ludda olw’ababaka ba palamenti abagambibwa okuba nti eby’okuteeseza abalonzi n’okuyisa amateeka baabivaako kati bakozesa palamenti kwegabanya musimbi, bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) e Mukono bakunguzza ensonga z’omubaka w’ekibuga ky’e Mukono mu palamenti, Betty Nambooze Bakireke ne bazikuba mu woofiisi ya kaliisoliiso wa gavumenti (IGG) nga baagala amunoonyerezeeko.

Bano nga bakulembeddwa Munghono Kenneth amanyiddwa ennyo nga Airforce nga beegattira mu kibiina kye bayise 12 Disciples of Greater Mukono, bakedde kukwata bipande mu ngeri y’okwekalakaasa ne boolekera woofiisi za IGG e Mukono ne bamukwanga ekiwandiiko omuli ensonga ez’enjawulo ze beemulugunya nga baagala azinoonyerezeeko.

Bano bagamba nti kijja kuba kikyamu okubeera n’omubaka abakiikirira mu palamenti ng’akulembera okulwanirira ensimbi y’omuwi w’omusolo nga bwe yalabibwa ggyo ly’abalamu ng’ateeka omukono ku kiwandiiko ekigoba bakkamisona ba palamenti abagambibwa okwegabira akasiimo k’ensimbi ezisoba mu kawumbi okuli ne Mathias Mpuuga eyafuna obukadde 500 olwo ate bakkamisona abasigadde abasatu eb’ekibiina kya NRM bbo ne bafuna obukadde 400 buli omu sso ng’ate naye si mulongoofu.

Bano bagamba nti tebafunanga bwerufu na nsasaanya ku nsimbi ezaweebwa Nambooze bwe yakubibwa mu palamenti n’amenyebwa omugongo n’agenda ebweru w’eggwanga mu America okujjanjabibwa mu kiseera we waabeererawo ensonga ya Togikwatako.

Bano bagamba nti ensimbi mpitirivu ezaasasanyizibwa mu kujjanjaba omubaka Nambooze mu ggwanga lya America era nga kubujulizi bwe bakafuna ttiketi y’ennyonyi yokka yali ya bukadde 62.

“Omubaka yamala omwaka mulamba mu America ng’ajjanjabibwa era ng’aweebwa ensimbi ez’obujjanjabi n’okumulabirira ye ne bba sso ng’ate yasigala afuna n’omusaala. Tukooye embeera ey’okwonoona ensimbi z’omuwi w’omusolo mu ngeri ey’ekifa mukokko, twakitegeerako nti ono ensimbi ennyingi ze yakungaanya mu kaseera ako, yagulamu nnyumba mu America era kati alina n’obutuuze bwa mirundi ebiri, mu Uganda n’e bulaaya, ebyo byonna twagala IGG abitinkuule azuule akawonvu n’akagga. Olw’okuba ezo zaali nsimbi za muwi wa musolo, tuvunaanyizibwa okumanya butya bwe zaasaasaanyizibwa,” bwe bategeezezza.

Munghono alumirizza nti n’eddwaliro Nambooze ly’agamba nti mwe yali afunira obujjanjabi nga bwe litaliiyo n’asaba n’ensonga eno etunulwemu nnyo.

Kinajjukirwa nti mu palamenti y’e 10 waliwo okulwanagana mu lutuula olwali luwakanya okuggya ekkomo ku myaka nga bakyusa ssemateeka mu mwaka gwa 2017 ekyaviirako omubaka Betty Nambooze Bakireke okufuna obuvune obwamuvirako okutwalibwa ebweru w’eggwanga okufuna obujjanjabi obwasasulirwa palamenti.

Kino kiwalirizza abamu ku bannakibiina okuva mu kibuga Mukono okusitukiramu ne batwala ekiwandiiko ekiraga okwemulugunya kwabwe  ewa IGG baagala okumanya ensasaanya y’ensimbi zino.

Bano basabye ne waofiisi y’omuwaabi wa gavumenti DPP okuvaayo enoonyereze ku nsimbi ezaweebwa omwami n’omwana wa Nambooze nga bagenze okumujjanjaba kizuulibwe oba nga ziri mu mateeka.

Era beemulugunyizza ne ku nsasula y’ensimbi z’eddwaliro nga bwezatekebwanga ku akawunti ya Nambooze ng’omuntu mu kifo ky’okuziteeka ku y’eddwaliro obutereevu nga bagamba nti ne wano waabulawo obwerufu.

Ye Peter Akule supervisor okuva mu woofiisi ya IGG e Mukono bw’abadde akwasibwa ekiwandiiko ategezezza nga bwe bagenda  ensonga okuzitwala ew’omuwaabi wa gavumenti asooke azetegereze oluvanyuma alabe eky’okuzzaako.

The post Bannakibiina kya NUP e Mukono Batutte Omubaka Nambooze Ewa IGG-Ensonga Ziva ku Nsimbi za Muwi wa Musolo appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *