Ow’emyaka Ebiri Attiddwa mu Bukambwe-Bamutunguddemu Amaaso ne Bamusalako Omutwe!

1 minute, 44 seconds Read

 

| KYAGGWE | MUKONO | Abatuuze ababadde beetegekera akabaga k’amazaalibwa baguddemu encukwe omu ku baana bw’awambiddwa omutemu n’amutungulamu amaaso oluvannyuma n’amutemako omutwe! Entiisa eno egudde ku kyalo Ttakajjunge ekisangibwa mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono.

 

Okusinziira ku ssentebe w’ekyalo kino, Balaba Mugarura, omwana eyatemuddwa mu bukambwe ye Rina Nantongo muwala wa Edina Nakimbugwe.

Balaba ategeezezza nti ekikangabwa kino kyaguddewo ku Ssande emisana ttuku ssaawa nga mukaaga, omwana Rina Nantongo ow’emyaka ebiri gyokka bwe yabuze nga baagenze okumunonyaako ne basanga ng’attiddwa nga n’omulambo guteekeddwa mu kaabuyonjo y’okumuliraano.

Nakimbugwe nga mupangisa ku kyalo kino kigambibwa nti yabadde yeegasse ne munne okukolera omu ku baana baabwe akabaga k’amazaalibwa wadde nga kano tekaasobose kubeerawo olw’ekikangabwa kino nga baakomye ku kuteekayo ttenti nga n’emmere gye baabadde bamaze okufumbye yabadibiridde.

 

Balaba yagambye nti abatuuze bagezezzaako okugoba gwe baateeberezza okubeera omutemu nga tebamanyi oba yabadde asse omwana nga balowooza nti mubbi nga bano be baamusuuzizza ensawo gye yabadde nayo ne basanga nga mulimu akambe akoogi akaakozeseddwa okutta omwana nga kaliko n’omusaayi n’obusuuka. Eby’embi, mbu ono yasobodde okwemulula n’adduka.

Balaba yategeezezza nti ettemu lino lyabadde mu kifo ekiri ku luguudo mu kaabuyonjo eri kw’emu ku mayumba agali mu kitundu omuli abantu wadde nga yo teriimu bagibeeramu. 

Ssentebe n’abatuuze bagamba nti obumenyi bw’amateeka ku kyalo kyabwe bweyongedde wadde ng’ate eky’okutta omwana mu ngeri eno kibadde tekinnabeerawo ng’obuzibu babutunuzza ku bavubuka abasusse okunywa enjaga n’okukozesa ebiragalalagala.

 

Abatuuze baawanjagidde poliisi okubongera ku bukuumi, nga ne mu bbanga lya myezi ebiri egiyise, omwana Shon Sserunkuuma ow’omwaka ogumu yasaddaakibwa ku kyalo Buyuki mu ggombolola y’emu eno ey’e Nama omulambo gwe ne guzuulibwa nga tekuli mutwe mu kaabuyonjo y’ekkanisa ya Katoogo Pentecostal Church kinnya na mpindi n’amaka omwana we yali abeera.

 

Ssentebe Balaba era yategeezezza nga mu mugga Ssezzibwa, bwe waliyo abavuzi ba bodaboda babiri abattiddwa mu kiro bodaboda zaabwe ne zibbibwa nga poliisi ekedde kuggyayo mirambo.

The post Ow’emyaka Ebiri Attiddwa mu Bukambwe-Bamutunguddemu Amaaso ne Bamusalako Omutwe! appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *