Ssentebe W’ekyalo N’omutuuze Battiddwa mu Ntiisa!!!

1 minute, 50 seconds Read

| KYGAGGWE TV | LUGAZI | Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Vvumba ekisangibwa mu munisipaali y’e Lugazi mu disitulikiti y’e Buikwe abazigu bwe basse abantu babiri ng’omu ku bano y’abadde ssentebe waabwe ow’ekyalo.

Ssentebe ye Moses Boogere ng’atemuddwa n’omutuuze omulala ategeerekeseeko erya Buwembo nga bano olumaze okubatta abatemu ne bakuuliita ne ppiki ppiki zaabwe kwe babadde batambulira.

Entemu lino Kyaggwe TV ekitegeddeko nti lyabaddewo mu kiro ekyakeesezza ku Ssande.

We twatuukidde ku kyalo kino, ng’abatuuze n’ab’enganda z’abagenzi bali mu miranga na kwaziirana nga bano twabasanze mu kibira ekirinaanye ekitoogo ky’omugga Ssezibwa, era nga nnamungi w’abatuuze yabadde yeebungulude emirambo.

Abapoliisi okuva e Lugazi baatuuse ne beekebejja emirambo wamu n’okukunganya embukuuli z’emiggo egyakozeseddwa abatemu okukuba abagenzi ku mitwe okutuusa lwe baabasse olwo bbo ne bakuliita n’omunyago gwabwe.

Abatuuze abaabadde mu ntiisa bateebereza nti ettemu lino lyandiba nga lyekuusa ku ttaka ssentebe Boogere lye yabadde agenze okutunda e Mukono, era nga abazigu balabika bazze bamulinya kagere nga basuubira nti yabadde n’ensimbi ze yafunye okuva mu buguzi bw’ettaka.

Omubaka Sserubula ng’ayogera.

Bano baawanjagidde ab’eby’okwerinda okwongera ku bukuumi kubanga akatundu kano kaafuuka kattiro naddala eri abagoba ba bodaboda. Bano era baasabye abakulembeze ku njuyi zombi e Mukono ne Buikwe okulaba nga balima oluguudo naddala mu mugga Ssezibwa kuba ensiko esukkiridde nayo efuuse nsonga evaako abazigu okwegazaanyiza mu kitundu kino.

Omubaka Stephen Sserubula nga yasangiddwa mu kifo ewaabadde ettemu ng’agenze okudduukirira abatuuze be, yavumiridde ettemu lino, wamu n’okuwanjagira abatuuze abalina amawulire ku bayinza okuba emabega w’obutemu buno okuvaayo mu nkukutu bategeeze poliisi olwo abatemu basobole okukwatibwa bavunaanibwe.

Sserubula era yalabudde abatuuze bwe kiba kisoboka okwewala okutambula ekiro naddala nga bakimanyi balina okuyita mu bifo eby’obulabe gamba ng’ebirinaanye omugga Ssezibwa.

Akulira poliisi ye Lugazi ASP Hussein Musiho, yasabye abatuuze okuba abakakamu kubanga poliisi eriko omuntu omu gwe yabadde emaze okukwata nga wano okunoonyereza kwayo we kugenda okutandikira.

 

Gyo emirambo gy’abagenzi gombi gyateekeddwa ku kabangali ya poliisi ne gitwalibwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Kawolo okusobola okwekebejjebwa oluvannyuma giweebwe ab’enganda zaabwe bakole ku by’okuziika.

The post Ssentebe W’ekyalo N’omutuuze Battiddwa mu Ntiisa!!! appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *