RDC Alabudde Bannamwandu Okwewala Okuwasiza Abasajja mu Nnyumba za Babbaabwe

1 minute, 37 seconds Read

BYA TONNY EVANS NGABO

| KYAGGWE TV | WAKISO | Bannamwandu mu disitulikiti y’e Wakiso balaze enyiike gye bayitamu olw’abantu naddala ab’enganda za babbaabwe ababakkakkanako ne babatulugunya omuli n’okubagoba mu maka gaabwe amangu ddala nga baakafiirwa babbaabwe.

Bano bagamba nti oluusi n’abaana babeefuulira ne babagoba mu by’obugagga bye baba baakolera ne babbaabwe nga bakyali balamu ng’abavaayo ne bakalambira emirundi egimu batuusiddwako obulabe omuli n’okutemulwa.

Okulaga obutali bumativu, Bannamawandu abakungaanye mu bungi babadde Masuuliita ku  kisaawe mu disitulikiti y’e Wakiso mu kukuza olunaku lwa bannamwandu olutegekeddwa ekitongole kya REDEEM INTERNATIONAL  nga luno lukuzibwa buli ng’ennaku z’omwezi June 23 buli mwaka.

Mu ngeri y’emu, Bannamwandu era basonze olunwe mu kitongole ekiramuzi, poliisi wamu n’abakulembeze be babagamba nti ne bano beekobaana n’ababagobaganya ne batagoberera mateeka olwo ne babaleka mu bbanga nga tebaliiko ayamba.

Akulira abalamuzi ba kkooti ento mu disitulikiti y’e Wakiso, Omulamuzi John Francis Kaggwa asinzidde wano n’asaba abakyala abafumbo okufuba okuwandiika buli kye bakola n’abaami baabwe wamu n’okwagazisa abaamu baabwe okukola ebiraamo ky’agambye nti kijja kukendeeza ku mivuyo egiyitiridde naddala mu nsonga y’eby’obusika n’entalo z’amataka ezisinga okukosa ennyo bannamwandu.

Mukooyo Jolly Tonny, pulogulaamu maneja w’ekitongole kya Redeem International ettabi ly’e Wakiso asabye minisitule y’ekikula ky’abantu wamu ne disitulikiti y’e Wakiso okutongoza olunaku lwa bannamwandu nga bwe guli ku nnaku endala.

Ate y’omumyuka wa RDC atuula Makindye-Ssaabagabo, Kobusingye Vickie Katongole asabye bannamwandu abakyayagala okuddamu okufumbirwa obutaleeta basajja mu maka ga baana ky’agambye nti kiviiriddeko ettemu okweyongera.

Ku lwa disitulikiti y’e Wakiso, amyuka ssentebe wa disitulikitit Betina Nantege ategezezza nga bwe bagenda okufuba okulaba ng’olunaku luno luteekebwa mu mbalirira ya disitulikiti.

Nantege akunze ne bannamwandu obuteetuulako nga banyigirizibwa wabula bafube okwekubira enduulu mu bitongole ebikwasisa amateeka, mu bakulembeze ne mu bitongole ebirwanirizi by’eddembe.

The post RDC Alabudde Bannamwandu Okwewala Okuwasiza Abasajja mu Nnyumba za Babbaabwe appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *