Abakulu B’ebika Mu Buganda Batuuse e Namibia Okulaba ku Mbeera Kabaka Gyalimu

2 minutes, 11 seconds Read

“Ab’obusolya, bbo be Bwakabaka bwa Buganda, kiba kya bulyazamaanya, okubeera ng’abakozi b’Obwakabaka bwa Buganda be babuulira Obwakabaka bwa Buganda embeera Ssaabasajja Kabaka mw’ali. N’olw’ekyo tusazeewo ng’Abataka, okugenda e Namibia okulaba Kabaka waffe bw’afaanana,” Omutaka Mbirozankya.

BYA KYAGGWE TV

Wadde ng’olunaku lw’eggulo Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II yalabiseeko eri Obuganda ng’asinziira e Namibia gy’ali mu kujjanjabibwa n’okuwummulako ng’abasawo be mu ggwanga ly’e Germany bwe baamulagira, mu kiro ekikeesezza olwa leero ku Lwokubiri, abataka ab’obusolya, nga be be bakulu b’ebika by’Abaganda balinnye ennyonyi ne boolekera e Namibia okulaba ku mbeera entuufu Kabaka gy’alimu.

W’osomera bino, nga bano batuuse dda mu ggwanga ly’e Namibia era ebifaananyi babiweerezza nga batuuse bulungi.

Omutaka Mbirozankya ng’ayogera.

Nga tebannasimbula ku kisaawe ky’ennyonyi Entebbe, Omukulu w’ekika ky’Effumbe, Omutaka Walusimbi Mbirozankya yayogeddeko n’ab’amawulire n’abategeeza nti kibakakatako okumanya embeera Kabaka gy’alimu nga teri muntu alina kubateekerawo lukomera okubaziyiza okumulaba.

“Kino Abataka bakikola nga batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe ng’Abataka. Kubanga be bamulonda, be bamuteekako, era be bamukolako emikolo. Tuwulidde ebintu bingi ebyogerwa nga bibambibwa nti waliwo abantu abamu abalina obuvunaanyizibwa ku kumanya Kabaka bwali. Obwakabaka bwaffe bajjajjaffe baabuzimba mu mpagi eziggumidde, bulina abakozi, okuva ku Katikkiro, ab’ebitiibwa, ab’amasaza, abo bonna bakozi ba Bwakabaka bwa Buganda,” bw’annyonnyodde, n’agattako nti;

“Ab’obusolya, bbo be Bwakabaka bwa Buganda, kiba kya bulyazamaanya, okubeera ng’abakozi b’Obwakabaka bwa Buganda be babuulira Obwakabaka bwa Buganda embeera Ssaabasajja Kabaka mw’ali. N’olw’ekyo tusazeewo ng’Abataka, okugenda e Namibia okulaba Kabaka waffe bw’afaanana.”

Ttiimu yakulembeddwa Omutaka Kyaddondo, Lwomwa, Kasujja, Maweesano ng’esuubirwa okubuulira Obuganda amawulire amatuufu agafa ku Kabaka wa Buganda amangu ddala nga kye bajje bakomewo.

Abataka ku kisaawe ky’ennyonyi Entebbe nga boolekera e Namibia

“Tetusuubira ng’Abataka, muntu yenna kutulemesa kulaba Ssaabasajja Kabaka, kubanga Ssaabataka waffe, ate Obuganda njagala okubutegeeza nti ffe abakulu b’ebika, ffe tuzaala Ssaabataka, era Abakulu b’Ebika, ffe tuzaala abaami, ekyo kitegeeza mu Bwakabaka tuli ba nkizo, tewali wantu wonna wasobola kutulema kutuuka, ku nsonga ezikwata ku Bwakabaka bwa Buganda,” Omutaka Mbirozankya bwe yannyonnyodde.

Kinajjukirwa nti Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga azzenga asimbira ekkuuli abantu bonna abazzenga basaba okulaba Kabaka mu mbeera gy’alimu nga mu bano mwe muli n’Abataka bano bennyini. Eno y’emu ku nsonga lwaki Omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka, Omutaka Augustine Kizito Mutumba akulira ekika ky’Ekkobe bino yabyesambye nga tayagala kunyiiza Kamalabyonna.

 

The post Abakulu B’ebika Mu Buganda Batuuse e Namibia Okulaba ku Mbeera Kabaka Gyalimu appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *