Abasiraamu bakungaanye mu bungi ku muzikiti omukulu mu kibuga Mukono okusaala Iddi oluvannyuma ne beenyigira mu kusala ebisolo.
Ng’akulembeddemu okusoma khutubba, disitulikiti Khadhi w’e Mukono, Shiekh Abas Ssenkuba Ssonko akunze Abasiraamu okwenyigira mu kukola ennyo n’agamba nti abaavu abalowooleza mu kusabiriza mu kifo ky’okukola n’ejjana tebagirina.
Bano oluvudde wano buli omu agenze okwetegekera okusala ebisolo mu bifo eby’enjawulo.
Amyuka RDC w’e Buvuma, Patrick Mubiru ng’ali wamu ne bannansi ba Pakistan bakungaanyizza abantu ku kibanda kya Wacity Motors ewatundibwa emmotoka e Ntaawo mu kibuga Mukono ne basala ente bbiri ne babagabira ennyama.
Mubiru akunze Bannayuganda okufuba okwagalana n’okwewala enjawukana mu ddiini wadde mu ndowooza z’eby’obufuzi.
Bano abakunze okwenyigira mu nteekateeka za gavumenti ez’okugaggawaza bannansi omuli PDM, emyooga, Operation Wealth Creation n’endala n’agamba nti kino bwe banaakikola, n’abo abatafunye busobozi busaddaka ku mulundi guno, omwaka ogujja bajja kukisobola.
The post Abasiraamu e Mukono Bajjumbidde Okusaala Iddi N’okusala Ebisolo appeared first on Kyaggwe TV.