Mbaziira Ow’eby’ettaka e Mukono Asuze mu Kkomera

Ofiisa omukulu mu woofiisi y’eby’ettaka e Mukono akwatiddwa n’aggalirwa ng’entabwe eva ku mivuyo mu woofiisi y’eby’ettaka e Mukono. Robert Mbaziira y’akwatiddwa ku biragiro bya minisita omubeezi ow’eby’ettaka, Sam Mayanja mu lukiiko lwa bbalaza lw’atuuzizza e Mukono ku kitebe kya disitulikiti. Mbaziira okukwatibwa kiddiridde okumala ebbanga ng’abantu ab’enjawulo bajja baamwemulugunyaako ku bigambibwa mbu y’omu ku bali […]