Nsikonnene posing with his seven wives in a group photo.

Embaga y’ebyafaayo yiino-Omusajja bamuwooye ne hakki ze musanvu!

2 minutes, 34 seconds Read

Ebyafaayo nga bwe bitaggwa mu nsi, omusajja wuuno akoze ebyafaayo olwaleero bwe bamuwooye ne bakyalabe musanvu be ddu. Ono yasoose kubanjula omu kw’omu ng’ababiri ku bano baaluganda omu yadda ku munne nga yabayanjulidde mu maka ga kitaabwe mu kwanjula era okwabadde okw’ebyafaayo.

Bino bibadde ku kyalo Namasengere mu Nakifuma mu disitulikiti y’e Mukono ng’ab’eno bawuniikiridde omusajja Ssaalongo Habib Nkokonnene bwe bamuwooye ne hakki ze musanvu nga zonna nsanyufu bitya, nga teri wadde eraga obuggya.

Omukolo guno guyindidde ku kyalo Mugereka ekisangibwa mu ssaza ly’e Nakifuma, kinnya na mpindi n’ekyalo Namasengere kabwejumbira Nsikonnene kwe yazimba amaka ag’ebyafaayo mw’abeera ne bakyalabe musanvu.

Ono agamba nti yakola entegeka kuba buli mukyala ku nnyumba eno alinako ekisenge era buli mukyala alina ekisanja, teri ayingira mu kisanja kya munne.

Ekirala ekisinzze okwewuunyisa abalabi kwe kuba nti abakyala bano bonna bakyali bawala bato, ng’abamu basigadde beebuuza oba tebabaze byanfuna nga mu nnaku ntono bagenda kudduka n’akasente omukulu bamuleke mu kibululu nga talinaako wadde omu.

Ssaalongo Nsikonnene ne bakyalabe ab’oluganda ababiri, Sharifa Birungi ne muto we Aisha Kabbibu lwe baayanjula kabiite waabwe.

Abalala batandise okubisala nti akagere omukulu gy’ali omusawo w’ekinnansi, yandiba nga yabaliisa akanambeeya, oba nga yabateeka mu ccupa kati buli we badda abalaba.

Bwe tuddayo ku mukolo, abantu abawerera ddala be beesombye okubeerawo ng’abajulizi okusobola okukakasa oba bulijjo bye bawulira ne bye babadde balaba ku mawulire ddala bituufu.

Nsikonnene yabuna emitimbagano bwe yagenda mu maka ga Julius Kironde omutuuze ku kyalo Katoogo ekisangibwa mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono okwanjula ab’oluganda babiri abaddiringanako nga bano be baaweza ennamba ya bakyalabe omusanvu.

Ab’oluganda bano abaamize ensanafu ne bakkiriza okufumba mu ddya erimu ate nga lirimu ne baggya baabwe abalala bataano ye Sharifa Birungi ne ne muto we Aisha Kabbibu.

Mu kwanjula, Nsikonnene yatutte ebintu ebyawuniikirizza abatuuze nga buli kye yatutte yakitutte mu ddabo ddabo okuli pikipiki bbiri, ente bbiri, ebisambi by’ente bibiri, ssukaali, entebe lugalaamirizo eza taata bbiri, enkoko z’abako n’amakanvu ne kalonda omulala bw’atyo.

Omukolo gw’embaga ogugenda mu maaso olwa leero  ku Ssande gutandise na kuyisa bivvulu mu kabuga Mugereka okubadde aba bodaboda n’aba band ababadde bawerekeddwako emmotoka okuli amannya g’abakyala be bonna omusanvu b’akubye embaga, wakati mu bantu ababadde bakwatiridde Ku makubo okwelorera ku binene.

Ssaalongo Nsikonnene alumizza abagenze okusunga bw’akutte bakyalabe omu kw’omu nga bw’akumba nabo ng’abayingiza mu busenge gye babakoleddeko eby’obugole. Bino bibadde bigenda mu maaso ng’enduulu ez’oluleekereeke bwe zisaanikidde ekitundu.

Kabwejumbira ono ategeezezza nga bw’asazeewo okwawukana ku basajja abalala n’akuba bakyala be bonna embaga olw’empisa zaabwe ennungi, obugumiikiriza n’okwagala kwe bamulaze era nti bonna bakkiriza okubakuba embaga omulundi gumu.

Ono era agambye nti akamu Ku bukodyo bw’akozesezza okukuuma abalungi be bano mu ffaamu ye kwe kubawa bonna buli omu ky’ayagala mpozzi n’obutabalumya mu mukwano kuba ye mu kukekeza ennyago talina amuwunyamu.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *