Gavumenti Eyongedde Amaanyi mu Mulimu Gw’okutaasa Entobazi

Bya Tonny Evans Ngabo Mu kiseera ng’eggwanga likyabooyana n’ekizibu ky’ebbuggumu ery’amaanyi sso ng’ate enkuba lw’etonnye eggyiramu kibuyaga ow’amaanyi n’agoya ebyalo ebiwerako mu bitundu by’eggwanga eb’enjawulo nga bino abakugu mu nsonga z’obutonde babitunuza ku kya kusanyaawo buttoned bwa nsi, Minisitule y’amazzi n’obutonde  bw’ensi ewera nkolokooto nti bagenda kukufuggaza abo bonna abkyalemedde mu ntobazi n’abasanyaawo ebibira bya […]

Bp. Ssenyimba Abadde wa Mugaso Nnyo Eri Obwakabaka Bwa Buganda-Kabaka

Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II yakungubagidde musajjawe, Omubalirizi w’e Mukono ow’okubiri eyawummula, Michael Solomon Ndawula Ssenyimba eyaseeredde. Kabaka mu bubakabwe bwe yatisse Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, yagambye nti Bp. Ssenyimba abadde mpagi sseddugge, ow’enkizo si mu buweereza bwa ddiini yokka oba mu kisaawe ky’eby’enjigiriza wabula ne mu kusitula ennono n’obuwangwa bwa […]

Kitalo! Bp. Michael Ssenyimba Afudde!!!

Abakulisitaayo mu bulabirizi bw’e Mukono ssaako Ekkanisa ya Uganda okutwalira ewamu baguddemu encukwe oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kw’eyali omulabirizi w’e Mukono ow’okubiri, Bp. Prof. Micheal Ssenyimba. Amawulire gano ag’ennaku Abakulisitaayo bagafunye okuva ku mulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo akawungeezi ka leero. Wadde ng’omulabirizi Ssenyimba abadde amaze akaseera ng’olumbe lumubala embiriizi, ekituufu ekivuddeko okufa kwe […]

Aba Bodaboda Beekokkola Obubbi Bwa Pikipiki Obucaase

Bya Abu Batuusa Obubbi bwa pikipiki obutwaliramu okutta abazivuga obusaasaanidde ebitundu bya Kampala eby’enjawulo n’ebirinaanyeewo bwewanisizza abavuzi ba bodaboda emitima. Bano bagamba nti bangi ku bannaabwe battiddwa ne pikiki zaabwe ne zobbibwa ng’ab’omukisa baakubibwa ne babalekako kikuba mukono nga mu kiseera kino banyiga biwundu. Mu bimu ku bitundu ebikyasinze okubeeramu obubbi bwa bodaboda ye munisipaali […]

Omubaka Naluyima Aguze Wawagidde Enteekateeka ya Kabaka Birthday Run

Bya Abu Batuusa Ng’enteekateeka y’okukunga Bannayuganda okujjumbira n’okwetaba mu misingye gya Kabaka Birthday Run egenda mu maaso, omubaka wa palamenti omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso, Betty Ethel Naluyima y’omu ku bavuddeyo okugiwagira. Namuyima akiise embuga n’agula emigyozi abantu mwe banaddukira egiweredde ddala 300 nga gino agenda kugigabira abawagizi be mu disitulikiti y’e Wakiso nabo basobole […]

Akakiiko K’eddembe Ly’obuntu Kasitukiddemu Olw’amakampuni G’Abachina Agayasa Amayinja Agakosa Abantu

Abakakiiko k’eddembe ly’obuntu mu disitulikiti y’e Wakiso kasitukiddemu oluvannyuma lw’abatuuze okwekubira enduulu gye kali nga beemulugunya ku makampuni agayasa amayinja ge bagamba nti gabakosezza mu ngeri ezitali zimu omuli n’okukosa obulamu bwabwe kyokka nga ne bwe beekubira enduulu mu be kikwatako teri kikolebwawo. Akakiiko kano okutuuka okuvaayo kiddiridde abatuuze ku byalo bisatu okuli Busawuli, Buteregga […]

Abasajja Ab’Advent Bajjumbidde Okusaba Mwe Babajjukirizza Obuvunaanyizibwa Bwabwe

Bya Abu Batuusa Abasajja ab’Advent basabidwa okuzuukuka bave mu tulo kubanga abakyala bababyiseeko nga kati be beetise obuvunaanyizibwa bwabwe. Bino bibadde mu bubaka bw’omusumba David Mpande nga y’akulembera abasajja mu Central Uganda Conference mu kusinza okwenjawulo okubaddemu abasajja bokka nga basobye mu 500 okuva mu Kampala Zone ng’era bakungaanidde ku Wakisha Recreation Centre e Wakiso. Omusumba […]

Besigye Ateekateeka Kukola Kibiina Kyabyabufuzi Kipya

Eyaliko Ssenkaggale wa FDC, Rtd. Col. Dr. Kiiza Besigye ng’ali wamu n’ekiwayi ky’ekibiina kino eky’e Katonga ali mu nteekateeka ya kutandika kibiina kya byabufuzi kipya oluvannyuma lw’abakulembeze abali e Najjanjankumbi okubasenza oluti ng’ekikere. Besigye mu nteekateeka eno ali n’akola nga ssenkaggale wa FDC w’ekiwayi ky’e Katonga, Omuloodi Erias Lukwago, Amb. Wasswa Biriggwa n’abakulembeze abalala nga […]

Abakulembeze b’e Nansana Batongozza Bulungibwansi mwe Bagenda Okuyita Okweyonja

Bya Abu Batuusa Abakulembezze ba Nansana Division nga bakulembedwamu Mmeeya Ssaalongo Joseph Matovu ne bakkansala okuva ku mitendera egy’enjawulo baakoze bulungibwansi mu bitundu okuli Lugoba, Kazo n’ebitundu ebirala ebirinanyeewo mwe baayise okulongoosa ebifo by’olukale omuli obutale. Mmeeya Matovu yasinzidde wano n’asaba abantu okwenyigira mu kukola bulungibwansi naddala mu kiseera kino ng’Obwakabaka bwa Buganda bweteekerateekera okukuza […]

Poliisi Esimbye Bataano mu Kkooti mu Gw’okutta Lwomwa

Poliisi emaririzza okunoonyereza mu musango gw’okutta eyali omukulu w’ekika ky’Endiga, Lwomwa Ying. Daniel Bbosa. Abantu bataano be bakwatiddwa nga bano poliisi ebatutte okubasimba mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Rubaga Magistrate’s Court e Mengo mu Kampala. Abavunaanibwa kuliko; Noah Luggya agambibwa okukuba Ying. Bbosa amasasi agaamutta, Harriet Nakiguli, Ezra Mayanja, Milly Naluwenda ng’ono muwandiisi mu kkooti […]