Mbaziira Ow’eby’ettaka e Mukono Asuze mu Kkomera

3 minutes, 57 seconds Read

Ofiisa omukulu mu woofiisi y’eby’ettaka e Mukono akwatiddwa n’aggalirwa ng’entabwe eva ku mivuyo mu woofiisi y’eby’ettaka e Mukono.

Robert Mbaziira y’akwatiddwa ku biragiro bya minisita omubeezi ow’eby’ettaka, Sam Mayanja mu lukiiko lwa bbalaza lw’atuuzizza e Mukono ku kitebe kya disitulikiti.

Mbaziira mu ttaayi nga bamutwala oluvannyuma lwa Minisita Mayanja okulagira akwatibwe..

Mbaziira okukwatibwa kiddiridde okumala ebbanga ng’abantu ab’enjawulo bajja baamwemulugunyaako ku bigambibwa mbu y’omu ku bali emabega w’okufulumya ebyapa ebisukka mu kimu ku ttaka lye limu, okukola ebyapa ku ttaka ly’abantu ebyeyambisibwa abagambibwa okuba abagagga abali emabega w’okugoba eb’ebibanja ku ttaka ng’era mbu n’ettaka lya gavumenti e Mukono, Buikwe ne Kayungaerigwa mu woofiisi y’emu ligabiddwako ebyapa ne litwalibwa abantu ab’olubatu mu ngeri ey’amankwetu etagoberera mateeka.

Olusituse okwogera, Minisita Mayanja n’alagira aba poliisi okukwata mbagirawo Mbaziira ng’agamba nti emivuyo egimwetooloolerako egiri ne mu woofiisi ye n’ow’emmindi asena ng’era okusituka okujja e Mukono yasoose kumunoonyerezaako.

Mbaziira abadde atudde mu ttenti omubadde abakungu abuze okusaba ettaka limumire ng’awulira Minisita Mayanja akola ebiragiro ebimukwata wakati mu bukambwe obusukkiridde.

Mayanja alabudde abagenda okukwata Mbaziira n’okumunoonyerezaako obutageza kumulyako nguzi kuba akimanyi bulungi mbu ono (Mbaziira) mugagga ffugge nga kibadde kizibu omuntu okumuwawaabira n’akwatibwa.

Minisita Mayanja ng’asoma mu lipoota Bp. Kagodo (ku ddyo) gy’amukwasizza. Ku kkono ye Mubaka wa disitulikiti y’e Mukono mu palamenti omukyala, Hanifa Nabukeera.

“Mbalabula, ssinga munaamuta nga temumalirizza kunoonyereza na kulaba ng’avunaanibwa ng’amateeka bwe galagira, oyo ali emabega w’okumuyimbula waakulaba akanfaamu. Obuyinza obukola ku bantu nga Mbaziira Pulezidenti w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yabutuwa n’atuwa n’ab’eby’okwerinda okubakolako. Mulabye eyo yonna gye mpise, n’ab’emmundu mbadde ndagira ne bakwatibwa,” Mayanja bw’agambye.

Nga Mbaziira atudde mu katebe alinda kiddako, owa poliisi abadde mu ngoye eza bulijjo amunonye w’abadde atudde n’amutwala wakati mu batuuze okumukuba olube.

Mu kusooka abatuuze okuva mu bitundu bya disitulikiti y’e Mukono eby’enjawulo baakaabidde Minisita Mayanja ennaku gye bazze balaba ng’abagagga babatulugunya n’okubagobaganya mu ttaka lyabwe nga ne bwe babadde beegezaako okufuna obwenkanya mu b’obuyinza kino tekisobose kuba ababatulugunya bakozesa ensimbi ne bagulirira omuli ne poliisi oba kkooti olwo bbo ate abatulugunyizibwa ne babaddako n’okubasiba ne babasiba ewatali wadde ayamba.

Omukadde Hanifa Namaja omutuuze ku kyalo Kamwanyi ekisangibwa mu kibuga ky’e Mukono aloopedde Minisita Mayanja nga Henry Bakireke bba w’omubaka wa munisipaali y’e Mukono Betty Nambooze Bakireke, Pr. Kalyango n’omusajja omulala amanyiddwa nga Colline abamubbako ettaka nga bayita mu mumutulugunya n’okumwonoonera ebintu nga n’ewuwe baasibawo ssengenge.

Omukadde Namaja ng’annyonnyola ensonga ze ez’okubba ekibanja kye.

N’abakulembeze okuli bassentebe b’amagombolola baavuddeyo ne balaga ebisinze okuvaako obuzibu okuli ne ssentebe wa Mukono Central Divizoni, Robert Peter Kabanda ategeezezza nti ensonga z’ettaka ziriko abazivunaanyizibwako bangi abazireetedde okudibagibwa.

Kabanda ategeezezza nga n’emiwaatwa emingi egyalekebwa mu tteeka ly’ettaka nagyo bwe givuddeko ababbi b’ettaka okugyogyobya abantu nga tebalina bwe babeetakkuluzaako.

Ate omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo naye yeekubidde enduulu ng’agamba nti ettaka ly’ekkanisa erisinga obungi liwambiddwa abantu b’ayise bannakigwanyizi abafuukidde abaweereza b’ekkanisa ab’obulabe nga kati ewamu ewali ppulojekiti ng’amasomero bapangisa bakuumi ba mmundu okukuuma abayizi. Asabye n’ekkanisa eyambibwe kuba n’emirimu mingi egiyimiridde olw’ekizibu kino eky’ettaka ekibafuukidde kagumba weegoge ng’ebbanga liweze nga tebafuna kuyambibwa wadde nga mu kkooti emisango gye giri nga ne mu woofiisi ez’enjawulo bawaabyeyo.

Ye RDC w’e Mukono, Fatuma Ndisaba Nabitaka agambye nti obw’olumu, bwe bafuna ebiragiro bya kkooti nga bibeetagisa okuteekebwa mu nkola baba tebalina kyakukola okuleka okubiteekesa mu nkola.

Abatuuze nga baloopera Minisita Mayanja ebizibu by’ettaka.

Ye omuyambi wa pulezidenti Phionah Barungi owa guno na guli naye alambise n’agamba nti baliko abantu bangi e Mukono be bataasizza nga bagobaganyibwa ku ttaka nga n’abamu babasibidde mu kifo kya poliisi e Mukono nga babatutte ku CPS e Kampala.

“Nze ndi muyambi wa pulezidenti wa ggwanga, ssetaaga kutuula butuuzi ng’abantu batulugunyizibwa n’okunyagibwako ettaka lyabwe,” Barungi bw’ategeezezza.

Omubaka wa palamenti ow’e Nakawa West nga ye minisita ow’ekisiikirize ow’ettaka naye akoowodde Minisita Mayanja okuvaayo asazeemu ebyapa ebikoleddwa ku ttaka ly’abatuuze mu bukyamu.

Minisita Mayanja ku nsonga zino, aliko ebyapa by’alagidde bisazibwemu era kino alagidde kikolebweko mu bwangu.

Mayanja agumizza ab’ebibanja abagobaganyizibwa ku ttaka n’agamba nti tagenda kubaleka kutulugunyizibwa ka babeere abo abali ku ttaka lya Kabaka.

 

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *