Nambooze Asitukidde mu Bakaluba-Twagala District Service Commission!

5 minutes, 25 seconds Read

Mu mbeera ya ‘bbwa ddene ligambwako nnyiniryo’, omubaka wa munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke aludde ddaani n’asitukira mu munnakibiina munne ekya National Unity Platform (NUP) ng’ono ye ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Dr. Rev. Peter Bakaluba Mukasa ng’amusaba mbagirawo ateekewo embeera esobozesa okulonda akakiiko akagaba emirimu.

Nambooze ng’akulembeddemu abeekalakaasi abaabadde bakutte ebipande ebiraga obutali bumativu olwa Bakaluba okwesuulirayo ogwa nnaggamba kati emyaka esatu nga disitulikiti terina kakiiko kagaba mirimu akamanyiddwa nga District Service Commission ekirese emirimu okugotaana ng’ebifo bingi tebiriimu bakozi sso nga n’abaana bangi abasomye abaalina essuubi okufuna emirimu batambudde kumpi bwoya kutuuka kubaggwa ku ntumbwe nga teri ggezi lye bafuna.

Nambooze anokolayo amalwaliro omutali basawo kyokka nga teri ngeri gye bayinza kuwandiikibwa okuleka nga disitulikiti erina akakiiko akagaba emirimu.

“Tulina eddwaliro eddene erya Mukono General Hospital, temuli bakozi bamala, amasomero mangi temuli basomesa, ebitongole bingi ku disitulikiti omuli abakozi abakaddiye kyokka ng’ebifo byabwe tebijjuziddwa ekikosezza ennyo entambuza y’emirimu ku disitulikiti,” Nambooze bw’annyonnyola.

Kkansala Samuel Odong mu lubugo n’omubaka Nambooze nga batambula mu kwekalakaasa ku Lwokuna.

Eby’embi, abakugu bagamba nti ebifo ebyo ssinga ababibaddemu bakaddiwa ne wayita ekiseera ekigere nga tebijjuziddwa, omukisa ogw’okubijljusa guba gukeeye kuba ensangi zino olwa gavumenti obutabeera na nsimbi, yagaana okuwandiika abakozi abapya okuleka okujjuza ebifo ebiba birimu abakaddiye.

Ekirala bye bifo omuli abakozi abatakakasibwanga nga bamaze mu bifo ebyo emyaka okuli akola ng’akulira eby’enjigiriza, Rashid Kikomeko, akola ng’akulira eby’obulamu mu disitulikiti, Dr. Stephen Mulindwa n’abalala bangi.

Nambooze ng’annyonnyola omusirikale eyabadde awambye emmotoka yaabwe ey’ebizindaalo.

Ng’alungamya olukungaana lw’amawulire, Nambooze yanokoddeyo enteekateeka ya World Bank ey’ebibuga eruubiriddwa okukola enguudo mu bibuga ebigwa wansi wa Kampala n’ebitundu ebirinanyeewo nga ne Mukono ebadde yaakuganyulwa mu nteekateeka eno ng’enguudo ezisinga obungi zikubibwa kkoolansi ssaako okuzimba akatale ka Kame Valley mu kibuga Mukono naye ng’abakozi omuli ba yinginiya abalina  ebisaanyizo ebituuliridde abalina okuddukanya enteekateeka eyo Mukono tebalina ng’ate eby’embi n’akakiiko akandibadde kabawandiika nako tekaliiwo nga n’enteekateeka ezikateekawo nazo buli lukya mbu ssentebe ayongera kuzitemerako ttaka nga n’okulumirirwa talaga ng’alumirirwa Mukono gy’akulembera!

Okwekalakaasa nga bwe kwabadde

Eby’okwerinda byanywezeddwa okwetoolola ekibuga Mukono ng’ab’amagye ne poliisi balawuna wakati mu banna kibiina kya NUP abaakedde okwekalakaasa nga beemulugunya n’okulumiriza ssentebe wa disitulikiti Bakaluba Mukasa olw’okussaawo kiremya okukakasa abantu abateekeddwa okubeera ku kakiiko akagaba emirimu aka District Service Commission, ekizingamizza empeereza ez’enjawulo eri abantu b’e Mukono.

Bano abaabadde bakulembeddwa omubaka Nambooze ne ba kkansala ab’enjawulo okuli abatuula ku disitulikiti nga Odong Samuel ne Lauben Ssenyonjo ssaako abatuula ku munisipaali y’e Mukono ne ku Mukono Central Divizoni ssaako Goma divizoni.

Bano baasoose kukungaanira mu ppaaka ya ttakisi e Mukono nga wano kkansala Odong yabadde ayambadde olubugo ng’alw’esumikidde mu ngeri ya kifundidwa ng’omusika.

Bwanika sipiika wa divizoni y’e Goma ng’alaga obutali bumativu bwe.

Bbo abalala baabadde bakutte ebipande ebyabaddeko ebiwandiiko ebyemulugunya n’okubanja ssentebe Bakaluba akakiiko kano, n’engeri emirimu naddala mu bitongole bya gavumenti gye gimaze ebbanga lya myaka esatu nga gyazingama omuli amasomero n’amalwaliro omutali bakozi olw’akakiiko akateekeddwa okugigaba obutabaawo.

Ab’amagye nga balawuna enguudo okuziyiza abeekalakaasa okukola effujjo.

Bano baasoose kukuba lukungaana okukunga abantu okubeegattaka kyokka poliisi n’erinnya eggere mu nteekateeka eno omuli n;okwagala okuwamba emmotoka eyabaddeko ebizindaalo ng’engenda ekunga abantu.

Gye byagweredde ng’abamu ku bbo bakwatiddwa poliisi n’ebimu ku bye baabadde bateeseteese okukozesa mu kwekalakaasa kwabwe ne biwambibwa ekyaleeseewo embeera ey’okuwaanyisiganya ebisongovu wakati w’omubaka Nambooze ne poliisi.

Kkansala Zaina Nakibirirango ng’alaga obutali bumativu bwe.

Nambooze yanyonyodde nga bwe baatemezeddwako ku lukwe lwa ssentebe Bakaluba olw’ekigendererwa kye eky’okufiiriza disitulikiti eno omuli n’ensimbi eziri mu buwumbi kati obukunukkiriza mu musanvu ezizze ziddizibwayo mu ggwanika ly’ensimbi erya gavumenti olw’obutakozesebwa nga kino kyonna kijjawo lwa disitulikiti butaba na kakiiko kagaba mirimu.

“Ffe kye twagala kiri kimu kyokka, Bakaluba aggye entalo ze ez’eby’obufuzi mu kakiiko ke tulwanirira akagaba emirimu kubanga ky’akola kufiiriza baana baffe ab’e Mukono abaamala okusoma abatalina mirimu olw’akakiiko akateekeddwa okugibawa akataliiwo, amasomero tegaliimu basomesa, n’amalwaliro bwe gatyo temuli basawo,” Nambooze bwe yalambise.

Nambooze n’abamu ku bantu abatono nga batambula mu kwekalakaasa olw’obutabaawo bw’akakiiko akagaba emirimu e Mukono.

Yagasseeko; “Gye buvuddeko disitulikiti eno yafiirwa ensimbi mpitirivu nnyo olw’abakozi ba gavumenti abamu be twalina abaabulankanya ssente z’omuwi w’omusolo kyokka nga ne gye buli eno bakyalya butaala kubanga akakiiko akateekeddwa okubabonereza tekaliiwo, abo abaawummuzibwa era abateekeddwa okuweebwa ensako zaabwe ne gye buli eno bakaaba kubanga tebakyakola kyokka n’ensimbi ezandibayambye tezibaweebwa olw’ebbula ly’akakiiko kano.

Eno n’embeera endala gye twagala okulwanyisa era nsuubiza nti tugenda kusigala nga twekalakaasa okutuusa ng’ensonga yaffe ekoleddwaako.”

Omu ku bakyala abeetabye mu kwekalakaasa ng’awanise ekipande ekiriko obubaka obusaba Baakaluba okwekuba mu kifuba akkirize akakiiko akagaba emirimu kateekebwewo.

Kkansala Samuel Odong akiikirira eggombolola y’e Nama ku lukiiko lwa disitulikiti y’e Mukono  yakakasizza nga gye buvuddeko bwe baafiirwa ssente okuva mu bbanka y’ensi yonna olw’ebbula ly’akakiiko kano n’ategeeza nga bwe batagenda kussa Mukono okutuusa ng’amannya ataano agaayisibwa kkanso ya disitulikiti mw’atuula gakakasiddwa era akakiiko kano katandike okukakkalabya emirimu.

Ssentebe Bakaluba akyakalubye!

Ye Bakaluba ataalabiseeko ku disitulikiti,  gye buvudeko yategeeza ng’abakulembeze bano bonna bwe balina ekigendererwa eky’okumussa ku nninga okuzzaako omukyala Stella Kiyondo eyali amaze ku kakiiko kano emyaka egisoba mw’etaano, gw’asimbidde ekkuuli oluvanyuma lw’okufuna abaali bamwemulugunyaako nga bwe yali akozesa obubi woofiisi ye ng’emirimu atunda mitunde kyokka nga n’abamu abaamuwanga ssente nga ssentebe w’akakiiko, yakomekkerezanga emirimu tagibawadde.

Peter Bakaluba Mukasa, ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono.

Yategeeza ng’omusango gw’ebbula ly’akakiiko kano bwe guli mu kkooti era nga gulindiridde okusalwawo omulamuzi aguli mu mitambo nga kino kye kyokka ekijja okusalawo eggoye ng’ewatali ekyo, Nambooze ne banne batongojjera busa!

“Nze omulimu nnagumala dda era amannya g’abantu abateekeddwa okubeera ku kakiiko kano nnagaweereza dda mu Public Service Commission e Kampala kyokka ssimanyi nsonga ntuufu lwaki ab’akakiiko bano baagana okubayisa era omusango guli mu kkooti. Nsaba abakulu bakkirize amateeka ge gaba gatulamula,” Bakaluba bwe yalambise.

 

 

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *