Fr. Kabenge Asabye Abagenda Okukola PLE Babakwase Katonda si Ssitaani

4 minutes, 15 seconds Read
Fr. Kabenge ng’akulembeddemu okusabira abayizi ba P7 aba Naggalama Junior.

Ng’abayizi ba P.7 beeteekateeka okukola ebigezo byabwe ebya PLE ebinaatandika nga November 8 biggwe nga November 9, abazadde abatakkiririza mu Katonda baweereddwa amagezi ogukoma ku kusasulira abaana baabwe ebisale by’essomero babawe n’ebikozesebwa ebisigadde bamale babaveeko.

Fr. Simon Peter Kabenge bano abawadde gaabuwa nti tebasaanidde kumala biseera mbu ate batwalira abaana baabwe obuti n’ebyawongo ebirala mbu bigenda kubayamba okuyita ebigezo.

Fr. Kabenge ng’ava mu kigo ky’e Mwereere ekisangibwa mu ssaza lya Klezia ekkulu ery’e Kampala okwogera bino abadde ku ssomero lya Naggalama Junior School erisangibwa ku luguudo oluva e Kampala okugenda e Kayunga mu Nakifuma-Naggalama T.C mu disitulikiti y’e Mukono.

Ono ng’asinziira mu mmisa ey’okusabira abayizi, ategeezezza nti abazadde mu kiseera kino basuubirwa okusibirira abaana baabwe entanda omuli okubawa buli kyetaago kye beetaaga gamba ng’okubasasulira ebisale by’essomero biggweyo, okubawa ebikozesebwa mu kusoma ng’emikebe (geometry set), ppeeni n’ekkalaamu, luula n’ebirala ssaako okubasabira babakwase Katonda.

Abazadde nga beetabye mu kusabira abaana baabwe.

“Eby’embi, ate eriyo abazadde mu kiseera kino abayinza okuleetera abaana baabwe obuti n’eby’awongo ebirala ne babasaba beekwase ba jjajja baabwe bbo be bakkiririzaamu, ekyo kibi nnyo era kya bulabe mu kaseera kano aka kazigizzigi, kuba ebyo biba bigenda kuwugula omwana abadde asoma akasembayo abiveeko ng’alowooza ebyo ebyawongo bye bamuwadde bijja kumuyamba okuyita mu kaseera kano ekitali kituufu. Sso nga ffe bwe tubakwasa Katonda n’okubasabira, tubakubiriza n’okusigala nga basoma nnyo ebitabo okutuusa ng’ebigezo biwedde,” Fr. Kabenge bw’annyonnyodde.

Abayizi ba P7 mu mmisa eyakulembeddwa Fr. Kabenge.

Bino Ffaaza yabyogeredde Mukono mu Nakifuma-Naggalama ttawuni kkanso ku ssomero lya Naggalama Junior School ku Lwomukaaga ng’asabira abayizi abalindiridde okutuula ebigezo bya UNEB ebya P.7 ebya PLE nga November 8 ne 9.

Ono era yalabudde abazadde abafuna akadde okukyalira ku bayizi baabwe ku masomero gye basomera n’abo abaviira ewaka okwewala okuboogerera ebigambo ebibamalamu amaanyi wabula babazzeemu buzza maanyi.

Abayizi nga basanyusa abazadde oluvannyuma lw’emmisa.

“Tekigasa kulangira mwana bussiru bwa kitaawe, n’omutegeeza nti teweewuunya kuba ne kitaawe oba nnyina yasembanga mu kibiina, mu kiseera kino! Nedda ekyo abazadde tetukikola,” Fr. Kabenge bwe yabawabudde.

Ono yagumizza abayizi nti ssinga baneekwata Katonda ne basigala nga basoma ebitabo byabwe okutuusa lwe banaamala ekibuuzo kyabwe ekisembayo, baakuyita ebibuuzo bino nabo beewuunye.

Fr. Kabenge ng’asembeza abayizi mu mmisa.

Fr. Kabenge era yalabudde abazadde abettanira enkola ya kizaalaggumba mu nteekateeka y’ekizungu omuli abamira empeke n’okwekubisa empiso n’agamba nti bino birina obulabe bingi nnyo eri obulamu bwabwe n’okusinga abaana be baba beetangira okuzaala.

“Klezia tekkiriza nkola ezo, n’olw’ekyo nze mbalagira kugenda kuzaala ensi eyala bantu. Mmwe abettanira enkola ezo, muli mu byammwe mikimanye nti yo klezia tebikkiriza,” bwe yategeezezza.

Abamu ku bayizi ba Naggalama Junior abalindiridde okukola PLE.

Abaaliko abayizi mu ssomero lino nga basomera ku ssomero lya Talents College Nabuti mu kibuga Mukono nabo baabaddewo ne bayagaliza bayizi bannaabwe emikisa basobole okukola ebigezo bayite ate babasangeyo mu ssiniya.

Jacent Shillah Nabayana, abadde akulira abayizi abawala nga y’omu ku bagenda okukola PLE yategeezezza bayizi banne nti eno ntandikwa ku lugendo lwe baakatandika nga n’olw’ekyo tebasaanidde kweyisa ng’abamazeeyo ensi ne bwe banaaba bamaze ebigezo. Wabula Nabayana yategeezezza abazadde n’abasomesa nti beetegese bulungi era balina essuubi nti ebigezo bagenda kubiwuuta buwa, baakuyitira waggulu nga bw’eri ennono y’essomero lyabwe.

Jacent Shillah Nabayana ku lwa banne aba P7 ng’ayogera.

Ronald Rujaganya nga ye mukulu w’essomero yategeezezza ntii omwaka oguwedde, batuuza abayizi 50 ebigezo bya PLE olwo 48 ne bayitira mu ddaala erisooka, babiri bokka ne bayitira mu ddaala ery’okubiri.

Rujaganya yagambye nti omwaka guno, bagenda kutuuza abayizi 65 nga babakakasizza bulungi nti olw’ebbanga lye bamaze nga babateekateeka, bonna baakuyitira mu ddaala lisooka.

Ssekajja ku lw’abazadde ng’ayogera.

Ku lw’abazadde, Godfrey Ssekajja yalaze okunyolwa olw’amasomero agamma abayizi ebibuuzo nga bwe gwabadde mu masomero agamu ku ntandikwa y’ebibuuzo bya UNEB ebya S.4 n’agamba nti omuzadde aba alina okukwatagana n’essomero ssente bwe ziba zigaanye n’asobola okukola ebigezo ne bazisasula mpola ng’ebibuuzo we birikomerawo nga bamazeeyo ezibabangibwa.

Omutandisi w’essomero lino, munnabyanjigiriza Lawrence Lugoloobi yakataatidde abayizi okusigala nga ba mpisa ebbanga lye basigazza okutandika ebigezo ne bwe banaaba babimaze ate ne bwe banaaba mu vvaaka n’agamba nti balina okwekuuma nga bawulize eri bazadde baabwe baleme kugwa mu kabi akaviirako n’abamu okugwa mu ntata kumpi kutuuka na kufiirwa bulamu.

Abamu ku bazadde b’abayizi ba P7 mu kifaananyi ekya wamu.

Abayizi ba P.7 abazze banywa mu bannaabwe akendo mu bintu eby’enjawulo omuli mu kusoma, empisa, obuyonjo, obukulembeze n’ebirala baweereddwa ebirabo omuli ebbaluwa ezibasiima n’ebirala.

Abayizi nga batwala ekitabo ky’evvanjiri mu mmisa.

 

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *