Aba Scout ba St. Joseph Pilot School badduukiridde ba bbebi mu Nsambya Babies Home

4 minutes, 6 seconds Read

Bya Lilian Nalubega 

Abasikawutu bennyamidde olw’abakyala abazaala abaana kyokka ne babasuula ekibaviirako bangi okufa n’abo abalondebwa ne bakuzibwa abantu abatabalinaako luganda ne bakula nga tebalina mukwano gwa bazadde buli muntu gwe yandyetaaze.

Abasikawutu bano bagamba nti omuntu yenna okukula obulungi aba asaana okusooka okuyonka ebbanga lye erisooka ery’emyaka ebiri nga bwe kirambikibwa obulungi abasawo era ng’alabirirwa n’okubudaabudibwa mu ngeri eyongera  okunyweza enkolagana ye nga omwana n’omuzadde.

Abaana abasikawutu nga basitudde n’okubudaabuda abaana abakuumibwa mu Nsambya Babies Home.

Okusinziira kw’akulira essomero lya St. Joseph Pilot School e Kabowa Robert Kabuye yategeezezza nti eby’embi, bano bagamba nti ensangi zino, ebitundu ebisinga obungi eby’abaana kino tebakyakifuna kyokka ng’eriyo abasukka ku butayonsa baana kyokka wabula ne babasuula olwo bbo ne beeyongerayo n’obulamu, ekibi ennyo si eri obulamu bw’abaana kyokka kuba abamu bafa olw’ebifo gye babasuula omuli n’ababasuula mu zi kaabuyonjo, ku makubo, mifulejje, ku kasasiro ne mu malwaliro gye babazaalira.

Kabuye agamba nti Uganda ng’emu ku nsi omusinga abaana abato n’abavubuka, gavumenti yeetaaga okuvaayo okulambika obulungi ku mateeka agakuuma abaana n’abawere ab’akazaalibwa olwo ebiseera by’eggwanga eby’omumaaso bireme kutemebwako ttaka.

“Kye kiseera gavumenti eveeyo n’amateeka agalambika obulungi era agakangavvula abakyala abazaala abaana ne basuulibwa oba ne babatulugunya mu ngeri ez’enjawulo era gateekebwe mu nkola. Ensonga eno nkulu nnyo naye abakulu be kikwatako ewali ne minisitule ennamba evunaanyizibwa ku baana n’abavubuka tevangayo kugirowozaako. Minisita, omuwandiisi omukulu ow’ekkalakakkalira (permanent secretary) ne bakamisona mu minisitule eyo bakola mulimu ki ng’obulamu bw’abaana bano ababa batalina musango na gumu ku nsi butokomoka era nga babatuga ng’abatta enkukunyi!” bwe yeebuuzizza n’okulaga okunyolwa.

Ono agattako nti: “Abaana abato ddala abakuumibwa mu maka g’abaana abatalina mwasirizi bambi babaako ne bye basubwa. Beetaaga omukwano ate n’okulya emmere entuufu okuzimba emibiri gyabwe. Beetaaga okukula nga balina omukwano gwa maama ne taata, balina eddembe okubeera ne bazadde baabwe bombi, maama ne taata, kino kirambikiddwa bulungi mu tteeka ly’abaana.”

Aba Scout (Robert Kabuye ku kkono) nga munne asitudde omwana ow’ennaku 20 omu ku bakuumibwa mu Nsambya Babies Home.

Kabuye yannyonnyodde nti Ne wankubadde bano ababalabirira bafuba naye bingi bye batasobola kutuukiriza olw’obusobozi n’agamba nti ffenna tulina okubadduukirira buli asobola abawe ky’alina.

Bino Kabuye yabyogeredde mu maka g’abaana abatalina mwasirizi aga Nsambya Babies Home abayizi aba Scout mu ssomero lya St. Joseph Pilot School e Kabowa bwe baabadde batutte ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo eri abaana abakuumibwa mu kifo kino.

Eno waasangiddwayo abaana ab’ennaku obunaku nga omu ku babavunaanyizibwako Sr. Maria Hellen Nanziri yagambye nti basomoozebwa okubalabirira mu ngeri esaanidde kubanga tebalina mata gayinza kubamala ate nga ne ssente za muswaba ddala ekibalemesa okubafunira ebyetaagisa ebimala.

“Okusingira ddala amata! Abaana abo beetaaga emikebe nga esatu emisana n’ekiro nga omukebe ogumu gugula ensimbi nnyingi kale bwetutafuna batukwasizaako bambi endabirira yaabwe tematiza!” Sr. Nanziri bwe yategeezezza.

Eby’embi, abamu ku baana bano babafuna okuva mu bitongole bya gavumenti omuli ne poliisi n’abakola ku nsonga z’abaana mu gavumenti ez’ebintu ng’amagombolola ne disitulikiti naye bano bakoma ku kubabaweereza bbo ne beetikka omugugu oubabeezaawo.

Aba Scout n’ebimu ku bintu bye beetikkidde aba Nsambya Babies Home.

“Gavumenti bw’etuwa abaana etuyambako ennaku ntono olwo ne batulekerera. Okubayimirizaawo kusigala mu mikono gya bazira kisa ate nga bangi ku baali batuyambako ennaku zino tubalina tetukyabalaba olw’embeera y’eby’enfuna enzibu ennyo eri mu ggwanga!” bwe yakkaatirizza.

Avunanyizibwa ku mbeera z’abaana mu maka gano Nakasozi Flavia yagambye nti mu kisèera kino balina abaana abawera 25 nga amaka gaabwe galina kuba n’abaana 30 n’akubiriza abantu abeetaaga abaana okubanona naddala nga beetegefu okugoberera amateeka ate nga bayina n’obusobozi okubalabirira.

Sr. Nanziri nga akwasa Kabuye Robert satifukeeti okubasiima olw’okubadduukirira.

“Twetaaga abantu abayise mu mitendera egikkirizibwa gavumenti okutuyambako ku kulabirira abaana bano. Eby’embi Bannayuganda balowooza ebyo bikolebwa Bazungu bokka ekitali kituufu, tulina ne Bannayuganda ab’emitima emirungi batutte abamu ku baana oluvannyuma lw’okutuukiriza emitendera era nga bano tubalondoola, abaana bali mu mbeera nnungi era basanyufu. N’olw’ekyo nneebaza abatutte abamu baana baffe era nga babalabiridde bulungi kyokka tetwandyagadde baana kulemera wano wadde nga bambi abo abalina ebizibu ebitali bimu nga abaliko obulemu, abalina endwadde ez’olukonvuba n’abalala abantu tebabeeyunira ekintu ekitwennyamiza. Bambi bonna babeera baana ate nga baagala okufiibwako, okulabirirwa n’okubudaabudibwa kyenkanyi!” Nakasozi bwe yakkaatirizza.

Abaana abali mu maka gano bavaawa?  

Okisinziira ku Sr. Nanziri, abaana abali mu maka gano poliisi y’esinga okubatwalayo nga balondebwa ku kasasiro, bannyululwa mu zikaabuyonjo gye bakasukibwa nga bannyaabwe babazadde, mu nsiko n’abamu nga batwalibwayo oluvannyuma lw’okubaggya ku bazadde baabwe abasangibwa nga tebalina busobozi bwa kulabirira baana baabwe oba abo ababa babatulugunya. Oluvannyuma bano baddizibwa bazadde baabwe bwe bazuulibwa ate bwe babula bongerwayo mu maka g’ekitongole kino awalala.

 

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *