Ssentebe wa disitulikiti y'e Wakiso Matia Lwanga Bwanika ku ddyo ne Minisita Mateke (ow'okubiri ku ddyo) mu lukiiko.

Amaka Agakuuma Abaana Abatalina Mwasirizi Gaweereddwa Nsalessale

1 minute, 51 seconds Read

Bya Tonny Evans Ngabo

Omuwendo gw’amaka  agakuumirwamu  abaana  abatalina mwasirizi agakolera mu bumenyi  bw’amateeka mu disitulikiti ez’enjawulo geeyongedde.

Abakungu okuva mu minisitule y’ekikula ky’abantu bagamba nti kino kivuddeko abaana bangi okutuusibwako obulabe okuli n’abakukusibwa ne batwalibwa ebweru w’eggwanga ng’abantu abeefuula ababayamba bakozesa obunafu mu bitongole bya gavumenti eby’enjawulo.

Abamu ku baddukanya amaka agakuuma abaana abatalina mwasirizi mu disitulikiti y’e Wakiso.

Okwogera bino, bano baaabadde mu disitulikiti y’e Wakiso ne bategeeza nti ate ekiri eno, kissaa kinegula, ng’amaka mangi agatandikiddwawo nga galina abaana be bagamba abatalina mwasirizi be balabirira naye nga tebaaalina bisaanyizo.

Minisita omubeezi avunaanyizibwaa ku nsonga z’abaana n’abavubuka, Sarah Nyirabashitsi Mateke ategeezezza nti amaka amakumi  abiri mu mukaaga (26) mu disitulikiti y’e Wakiso  ge gakolera ebweru w’amateeka nga tegafunanga lukusa okuva mu minisitule y’ekikula ky’abantu (Ministry of Gender, Labour and Social Development).

Eby’embi, Minisita Mateke agambye nti amaka gano ge gasingamu omuwendo gw’abaana abangi wabula nga amakumi asatu gokka ge gaakakaasibwa mu mateeka ne gaweebwa olukusa olukuuma abaana abatalina mwasirizi.

Mateke asinziridde ku kitebe kya disitulikiti y’e Wakiso mu nsisinkano  gy’abaddemu  n’abakwatibwako ku nsonga eno n’alabula bonna abakuuma  abaana mu bumenyi bw’amateeka  nti bakukwatibwa  okutandika  n’omwaka  ogujja mu mwezi  gw’okusatu awatali kubaako gwe battira ku liiso.

Mu ngeri y’emu, ono alaze obwenyamivu  eri abazadde abeesuliddeyo ogwannaggamba  ku nsonga y’okukuza  abaana baabwe nga kino kiviriddeko  omuwendo  gw’abaana  abatalina  waabwe okweyongera  naddala mu disitulikiti okuli Wakiso ne Kampala.

Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso Dr. Matia Lwanga Bwanika asinzidde wano n’ategeeza Minisita Mateke nti abakozi ba disitulikiti  buli bwe bagenda mu maka gano  agaliwo  mu bumenyi bw’amateeka batiisibwatiisibwa era abagakulira ne babaako  abanene  be bakubira amasimu okulemesa abakozi baabwe okukola emirimu .

Ate ye Butanda Shafic nga y’atwala ensonga z’abaana mu minisitule eno, (Principal probation officer) yasabye abazadde okuva ku nsonga z’okuzaala abaana abangi  be batasobola  kulabirira nga agamba nti ofundako obutazaala okusinga  okubonyabonya amabbujje agaleetebwa mu nsi nga tegalina musango.

 

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *