Embeera Y’essomero lya Kasanje C/U Yeeraliikiriza

1 minute, 52 seconds Read

Bya Tony Evans Ngabo

Embeera  ku ssomero lya Kasanje Church of Uganda Primary School mu Kasanje ttawuni kkanso mu disitulikiti y’e Waakiso yeeralikirizza abatwala eby’enjiriza wamu n’abakulembeze ba disitulikiti eno.

Bano bagamba nti ebizimbe ebisinga abayizi mwe basomera bikutte mu mbinabina, ebimu bikadde nnyo ng’ate bitonya ekitagambika nga mu kiseera kino abamu ku bayizi basomera mu bisiikirize bya miti.

Ekimu ku bizimbe by’ennyumba z’abasomesa.

Ekirala ekitunduzza abasomesa n’akulira essomero lino emitima z’ennyumba z’abasomesa ezafuuka edda ebifulukwa. Bano bagamba nti embeera eno yaviirako abazadde okwekyawa ne bakyusa abayizi ne babatwala mu masomero amalala ag’obwannanyini mu kitundu nga n’abamu ensimbi ezisasulwa mu masomero ago tebazisobola.

Akulirira eby’okulambula amasomero mu kitundu kino Kabanda Denis ategeezezza nti ensonga y’ekimu ku bizimbe ebiri obubi ku ssomero lino baagitwala  dda ewa CAO nga y’akulira abakozi ba gavumenti n’emirimu egikolebwa mu disitulikiti y’e Wakiso wadde nga tebannafuna kuddibwamu kwe.

Kabanda ategeezezza nti baagaana abasomesa okuteeka abayizi mu kizimbe kino wadde ng’ate we twatuukidde mu kifo kino ng’eriyo abayizi abali mu kizimbe kye kimu nga ng’emisomo gigenda bukwakku.

Ssentebe Matia Lwanga Bwanika ng’akulembeddemu okuggulawo ennyumba z’abasomesa disitulikiti ze yazimbidde essomero lino.

Bino bituukiddwako ng’abakulu okuva ku disitulikiti y’e Wakiso nga bakulembeddwamu ssentebe, Dr. Matia Lwanga Bwanika nga bali ku ssomero lino okuggulawo ekizimbe ky’ennyumba z’abasomesa ekyazimbiddwa disitulikiti.

Ssentebe Bwanika bw’abadde aayogera, obuzibu  abutadde ku butakkanya obuli wakati w’abaddukanya essomero lino wamu n’ab’ekkanisa ya Kasanje Church of Uganda.

“Kino si kituufu okulaba ng’abakulu abatwala essomero bali mu ntalo n’abalyoyi b’emyoyo aba Kasanje Church of Uganda olwo abayizi n’abasomesa ne basigala mu kubonaabona. Ensonga eno nja kugitwala ew’Omulabirizi w’e Namirembe tulabe ng’esalirwa amagezi,” bwe yategeezezza.

Wabula, okusinziira ku Nassozi Rebecca nga ye ssentebe w’abakulu b’amasomero mu tawuni kkanso y’e Kasanje wamu ne kansala w’ekitundu kino Busuulwa Fred Musansala obuzibu obuli  ku ssomero lino bagamba nti buvudde ku byabufuzi ebyayingizibwa mu nsonga z’essomero lino.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *