Ssaabasumba Ayanukudde President Museveni-Abazadde Obutabaako Kye Basasula ku Masomero Kikyamu!

2 minutes, 52 seconds Read

Bya Tony Evans Ngabo

Ssaabasumba w’essaza lya Klezia ekkulu erya Kampala, Paul Ssemwogerere ayanukudde omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni bwe yavuddeyo n’agamba nti eggwanga bwe linaaba lyakulinnya ku nfeete ekirwadde kya Siriimu (HIV/AIDS) abazadde tebasaanidde kusasula bisale mu masomero.

Museveni ng’asinziira mu disitulikiti y’e Rakai eggwanga gye lyakulizza olunaku lwa Siriimu olw’ensi yonna ku Lwokutaano nga December 1, yagambye nti kyannaku okulaba nga yateekawo okusoma kw’obwereere n’ekigendererwa eky’okukuumira abaana n’ababanaku abateesobola mu masomero, kyokka ng’eby’embi, abamu ku bakulu b’amasomero ga gavumenti baalemera ku ky’okusasuza abazadde ebisale ekiviirako abayizi abamu okuwanduka mu masomero n’abamu ne babuuka n’abasajja ababasiiga obulwadde bwa siriimu ekibuviiriddeko okusigala nga bwegiriisiza mu baana n’abavubuka okuva ku myaka 15 okudda waggulu.

Wabula Ssaabasumba endowooza ya Pulezidenti Museveni agiwakanyizza n’agamba nti abazadde balina okubaleka babeereko ensimbi ensaamusaamu ze basasula mu masomero g’abaana baabwe gye basomera kiyambeko okusitula omutindo gw’amasomero ago n’eby’enjigiriza okutwaliza awamu.

Ssaabasumba bino abyogeredde Namayumba mu disitulikiti y’e Wakiso bw’abadde akulembeddemu missa y’okujaguza emyaka 25 egy’ekigo kya Holly Family Catholic Parish ku Lwomukaaga nga December 2, 2023.

Alabudde abazadde abawawaabira abakulu b’amasomero mu woofiisi ez’enjawulo omuli eza ba RDC olw’okubasabayo ensimbi esaamusaamu nga n’oluusi za kusasulira baana baabwe kyamisana ku masomero n’agamba nti kikyamu.

“Tekiyamba kugamba bayizi kusomera bwereere ng’amasomero gali mu mbeera mbi ng’ewamu n’entebe abayizi tebalina kwe batuula, ebikozesebwa omuli ng’ennoni tewali, ebibiina tebimala n’abasomesa nga tebamala. Tulina okufaayo eri abaana ng’abazadde ababazaala, bwe tuba tunaabajjamu abantu ab’omugaso mu biseera by’omumaaso nga bakuze,” bw’alambise.

Matia Lwanga Bwanika ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso n’omubaka Betty Ethel Naluyima mu mmisa.

Ssaabasumba asabye abakulu mu gavumenti naddala abavunanyizibwa ku by’enjigiriza okuleka abazadde babeeko akasente akasaamusaamu ke bawaayo basobole okusitula omutindo gw’eby’enjigiriza mu ggwanga okusinga okulowooza nti buli kintu kirina kubeera kya bwereere nga enkola eno yaakuttattana eby’enjigiriza by’eggwanga.

“Gavumenti oba omukulembeze w’eggwanga yandiba ng’ayagala nnyo abaana basomere bwereere naye olw’amasomero amangi, obusobozi tebuliiwo obuteeka amasomero gonna ku mutindo ng’abazadde tebavuddeeyo kubeerako kye basasulayo,” bw’annyonnyodde.

Egimu ku migogo gy’abagole egigattiddwa.

Ku mukolo guno, abaana 375 be baweereddwa essaakalamentu lya Koofirimansiyo, sso ng’ate emigogo gy’abagole mukaaga gye gigattiddwa mu bufumbo obutukuvu mu nkola ey’ekikungo.

Ssaabasumba mu ngeri y’emu era alabudde abazadde ababinika abaana abato emirimu emingi ennyo, ssaako abo ababasindika okugenda okukola nga n’oluusi tebaliiko muntu mukulu ng’abamu batuusa ne mu matumbi budde nga bakyali ku makubo batunda ebyabaweereddwa nga kino kiteeka obulamu bwabwe mu matigga. Bano era abasabye okukozesa ekiseera ky’oluwummula okubuulirira abaana baabwe basobole okufuuka abantu ab’ensa era ab’omugaso.

Omubaka Paul Nsubuga.

Ssentebe wa disitulikiti y’e wakiso Dr. Matia Lwanga Bwanika asiimye eklezia olw’omulimu ogw’amaanyi gw’ekoze okukyusa embeera z’abantu mu ggombolola eno ey’e Namayumba era bw’atyo aloopye n’abazadde abatafuddeeyo kumanya baana bye babadde basoma mu kiseera kino nga bazeeyo ewaka nga bayita mu kutunula mu bitabo byabwe bwe kiba kyetaagisizza boogereko n’abasomesa.

Ate bbo ababaka ba palamenti okuli Betty Ethel Naluyima omubaka omukyala owa disitulikiti wamu ne Paul Nsubuga owa Busiro North basinzidde wano ne bategeeza nga bbo nga abali ku ludda oluvuganya gavumenti bwe batagenda kusirisaamu okussa gavumenti ku nninga nga bagisaba abantu baabwe ababuzibwawo nga Kati emyaka gyekulunguludde ng’abenganda zaabwe tebamanyi wa bano gye bali kyokka ng’embi bwe bavaayo ne bababanja, gavumenti edda mu kwekangabiriza.

Bano era basabye Ssaabasumba okubayambako okugatta eddoboozi lye okubanja abaana ba Uganda abaabuzibwawo ku nsonga ezitamanyiddwa.

Wabula ate ye Bwannamukulu w’ekigo kino ekya Holly Family Catholic Parish Fr Denis Ssebugwawo ategeezezza ng’omulimu ogw’okukulaakulanya ekifo kino bwe gukyagenda mu maaso.

 

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *