Okwewala Cervical Cancer, Omuwala Omuto Eby’okwegatta Biveeko!

2 minutes, 17 seconds Read

Bya Tonny Evans Ngabo

Abawala abaakyali abato balabuddwa okwewala okutandika ebikolwa eby’okwegatta nga tebanneetuuka. Abakugu mu nsonga z’eby’obulamu bagamba nti kino kye kimu ku bivaako ekirwadde kya kkansa wa nnabaana (cervical cancer) akyasinze okutta abakyala mu Uganda.

Dr. Frank Kalyango nga y’akulira eddwaliro lya Bulondo Health Centre III erisangibwa mu ggombolola y’e Mende mu disitulikiti y’e Wakiso agamba nti buli muwala lw’atandika ensonga z’okwegatta ku myaka emito kiteeka waggulu emikisa gye egy’okukwatibwa ekirwadde kya kkansa wa nnabaana.

Okusinziira ku bibalo, Uganda erina abakazi obukadde 13.1 abali waggulu w’emyaka 15 nga bano bali mu katyabaga k’okukwatibwa ekirwadde kino ekya kkansa w’omumwa gwa nnabaana.

Ebibalo era biraga nti buli mwaka, abakyala 6,959 be bakeberebwa ne basaangibwa n’ekirwadde kya kkansa w’omumwa gwa nnabaana sso ng’ate 4,607 be bafa olw’ekirwadde kino.

Bino bituukiddwako mu lusiisira lw’eby’obulamu olutegekeddwa ku ddwaliro lya Bulondo Health Centre III mu Wakiso disitulikiti. Mu bamu ku balwetabyemu be bakaawonawo b’ekirwadde kya kkansa abeekokkodde embeera ey’okuboolebwa ng’eby’embi, n’abamu ku bantu be babeera nabo mu ffamire zaabwe omuli n’ab’engandaa zaabwe bababoola ne kituuka n’okuvaamu obutabanguko mu maka.

Gatrude Nakigudde ng’asomesa ku kkansa w’omumwa gwa nnabaana.

Bakaawonawo bano beegattira mu kitongole kya Uganda Women’s Cancer Support Organisation  nga bavuddeyo ne basaba Bannayuganda naddala abaami abafumbo obutagobaganya bakyala  baabwe bwe babeera nga bazuliddwamu ekirwadde kya kkansa w’omumwa gwa nnabaana nga balowooza bagenda kukibasiiga.

Gatrude Nakigudde nga yakulira emirimu mu kitongole kino asinzidde ku ddwaliro lino n’agamba nti beesanze nga obutabanguko mu maka okusinga bubalukawo  oluvannyuma lw’omu ku bafumbo okuzuulibwamu ekirwadde kino ekya kkookolo wa nnabaana nga bangi atte balina endowooza nti kisibuka ku bwenzi ekireetawo entalo ezitaggwa mu maka wadde ng’endowooza eno si ntuufu.

Mu kwongerako n’abamu ku baasimattuka obulwadde bwa cancer, battottodde bye bazze bayitamu era ne babaako amagezi ge bawa Bannayuganda okwetangira ekimbe kino ki kattira.

Bano bagamba nti okujjumbira okugenda mu malwaliro okwekebeza lye limu ku ddagala ly’ekirwadde kino kuba liyamba aba azuuliddwamu kkansa okutandika okufuna obujjanjabi ng’obudde bukyali kkansa tannalanda kubuna bitundu birala eby’omubiri ekiviiramu n’abasinga okufa.

“Bw’oba ozuuliddwa mangu ng’olina obulwadde bwa kkansa wa nnabaana oba omulala yenna, essuubi oba na ddene nti bw’ojjanjabibwa oba osobolera ddala okuwona okusinga abo abazuulibwa ng’obudde bugenze nga tekikyali kyangu kujjanjabibwa kuba obutaffaali bwa kkansa buba bumaze okusasaanira ebitundu by’omubiri eby’enjawulo,” omu ku baasimattuka kkansa bw’annyonnyodde.

kkansa w’omumwa gwa nnabaana y’akyasinze  okumalawo  obulamu bwa bannansi mu Uganda ng’addirirwa kkansa w’akawago k’abasajja (prostate cancer) wamu ne kkookolo w’amabeere n’ebika ebirala.

 

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *