Enfa ya Ssaalongo Ssamanya Erese ab’e Nkokonjeru Bawuniikiridde!!!

2 minutes, 9 seconds Read

Abatuuze abawangaalira ku mutala Nkokonjeru n’ebyalo ebirinanyeewo mu ttawuni kkanso y’e Nkokonjeru baaguddemu encukwe bwe baafunye amawulire g’okufa kw’omu ku babadde abakulembeze ab’olulango mu kitundu.

Ssaalongo Edward Ssamanya ng’ono ye yali meeya wa ttawuni kkanso y’e Nkokonjeru eyasookera ddala ye yafudde ekikutuko nga yasangiddwa mu buliri nga lwamugolodde dda.

Ssamanya ayogerwako nga munnabyanjigiriza omwatiikirivu era omuwagizi w’Obwakabaka lukulwe, ng’ono amaze ebbanga eriwerako ng’ayesa empiki z’eby’obufuzi mu disitulikiti y’e Mukono n’e Buikwe ssaako ttawuni kkanso y’e Nkokonjeru nga ne w’afiiridde ng’akiika mu kkanso eno.

Okusinziira ku b’omu maka ge, Ssamanya yandiba nga yakubiddwa ppuleesa n’afiira mu buliri nga mukyalawe yagenze okumugolokosa okuva mu buliri anywe ku kacaayi k’oku makya yasanze eyiye efumba baavuunise dda!

Ssaalongo Ssamanya  yali mmeeya wa Nkokonjeru TC okuva mu mwaka gwa 1996 okutuuka mu 2001, ate nga yakiikako ku nkiiko eza disitulikiti okuli Mukono n’e Buikwe.

Ono era yavuganyaako n’okukiikirira Buikwe County mu Constitutional Assembly mu mwaka gwa 1994. Samanya ye mutandisi wa Nkokojeru College of Commerce nga mu kiseera kino y’abadde akiikirira abakadde era nga y’abadde avunanyizibwa ku by’enjigiriza ku lukiiko olufuzi olwa Nkokonjeru ttawuni kkanso.

Omwami wa Kabakaa atwala eggombolola ya Ssaabagabo Ngogwe Omulangira Rashid Kimera Kayima ategegezezza nti ekitundu kifiiriddwa omuntu ow’enkizo era abadde yeebuzibwako eby’ensonga.

Nnyini ntebe wa Nkokonjeru ttawuni kkanso, Ssentongo Ssali Bazitya agaambye nti ekitundu kifiiriddwa omuntu ow’ensonga gwe babadde batwala nga taata wa Nkokonjeru.

Ssentongo agasseeko nti Ssamanya abadde amanyi buli kikwata ku Nkokonjeru akawonvu n’akagga ate ng’abadde musingi munene nnyo eri eby’enjigiriza mu kitundu ekya Greater Mukono.

Ng’omu ku bantu ab’enkulaakulana ya Nkokonjeru okuviira ddala mu gy’e 90, Ssamanya yalina ekifo ekisanyukirwamu ekimanyiddwa nga Ssamanya village ng’eno bannaakatemba n’abayimbi okuli n’omugenzi Paul Job Kafeero baasaanyusizangayo abantu b’e Nkokonjeru n’e Bukunja okutwalira awamu mu biseera ebyo.

Ssamanya, omusajja Omuganda eyeddira Obutiko y’abadde Katikkiro w’essiga lya Ssemagonge e Bumbajja-Mukono. W’afiiridde ng’ali mu nteekateeka z’okwabya olumbe lw’ow’essiga lya Ssemagonge, omugenzi Elizimus Binywera Kyagaba.

Ssamanya ye taata w’amyuka ttawuni kiraaka wa munisipaali y’e Mukono, Luboyera Majerani n’abaana abalala abalina obuweereza obw’enjawulo mu bifo eby’ekizo mu ggwanga.

Enteekateeka z’okuziika Ssamanya zigenda kutandika ku Lwokutaano ssaawa nnya ez’oku makya ng’okuziika kwa ssaawa kkumi ez’olw’eggulo ku kyalo Kisoko-Katwe ekisanagibwa mu ggombolola y’e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono.

Omwoyo Gw’omugenzi Katonda Agulamuze Kisa.

 

 

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *