DOS wa St. Balikuddembe S.S Kisoga Agattiddwa mu Bufumbo Obutukuvu

2 minutes, 9 seconds Read

Bya Wilberforce Kawere

Atwala ebisomesebwa (Director of Studies-DOS) mu ssomero lya St. Balikuddembe S.S e Kisoga, Charles Ssekato Nsubuga yeewangulidde obufumbo obutukuvu, bw’akubye embaga kabiitewe era Nnaalongowe Roseline Namutyaba.

Msgr. Kayondo (wakati) ng’agatta ba Ssekato bufumbo obutukuvu mu klezia ya St. Balikuddembe e Kisoga.

Ssekato ne Namutyaba bagattiddwa mu Klezia ya St. Balikuddembe e Kisoga mu Ntenjeru-Kisoga TC mu disitulikiti y’e Mukono ng’omuyambi w’omusumba wa Klezia atwala essaza ly’e Lugazi, Vicar General Msgr. Dr. Richard Kayondo y’akuliddemu emikolo gy’okubagatta.

Msgr. Kayondo ng’ayigriza alaze okunyolwa olw’amaka amangi agasasika ensangi zino nga n’emyaka teginnawera ebiri ng’ababiri bagattiddwa mu bufumbo.

Ono alaze ensonga eziviiriddeko embeera eno n’agamba nti kisinze kuva ku bakyala abagendaa mu bufumbo ensangi zino ng’ekibatutteyo si mukwano ng’ennono y’okwagalana bw’eri wabula nga banoonya bya bugagga oba eby’enfuna ky’agambye nti kikyamu nnyo.

“Kyannaku nnyo nti abakyala ensangi zino bafumbirwa bintu. Oli atwala obudde nga yeetegereza abasajja, bw’azuula omusajja alina ennyumba ennungi, emmotoka kapyata, ettaka oba bbizinensi eyimiridde obulungi ng’ensimbi ezireetaa, oba mu mutima amwagala oba nedda olwo tamala budde ng’agenda mu banganda ze nga ng’abategeeza nga bw’afunye omulenzi. Mu bbanga mpawe kaaga nga bateekateeka kwanjula na mbaga. Obufumbo ekika ekyo bubeera mu lusuubo era bubeera bwa bulabe nnyo, ssinga wabaawo ekikyukamu katono, omukyala ow’engeri eyo aba tayinza kusigalayo,” bwe yategeezezza n’agattako nti;

“Amaka mangi gayuuga ensangi zino olw’okubulamu omukwano, emirembe, empuliziganya, empisa n’obuntubulamu!”

Msgr. Kayondo era yategeezezza nti abaagalana ensangi zino beetamwa mangu nnyo obufumbo era bangi baawukanira mu kaseera katono ddala nga baakafumbiriganwa ng’omwami oba omukyala akwatamu ebyanguwa, nga beerabidde ebirayiro bye bakuba ‘eby’okubeera bonna okutuusa okufa lwe kulibaawukanya, mu bulamu, mu bulwadde, mu bwavu ne mu bugagga.’

Wabula Kayondo era yavumiridde omululu ogweyongedde ennyo mu bakkiriza ogubatuusizza n’okutwala ebitali byabwe omuli ensimbi n’ebintu ebikalu nga n’oluusi ate bya banaku n’okubasinga nga kino yakiyise mulugube, obulyake, obukumpanya n’obukuluppya ebisuza abantu ensangi zino nga tebeebase.

Oluvanyuma lw’okugatibwa, abagole baasembezezza abagenyi baabwe ku ssomero lya St. Balikuddembe S.S e Kisoga-Mukono.

Akulira essomero lino era omukozesa w’omugole omusajja Lydia Kagoya Lukwago yasinzidde wano n’ayozaayoza nnyo omusomesa ono Ssekato n’omukyala olw’okutuuka ku kkula lino ely’obufumbo obutukuvu.

Kagoya era yasomoozezza abasomesa bonna okubeera eky’okulabirako nga bafuna obufumbo obutukuvu n’ategeezaa nga ng’essomero bwe liri obulindaala okubakwasizaako.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *