Mukono General Hospital Teririna Bidduukirira Bagudde ku Bubenje

4 minutes, 23 seconds Read

Eddwaliro lya Mukono General Hospital lyekubidde enduulu eri gavumenti n’abazirakisa okulikwasizaako okwongera okutereeza empeereza naddala bwe gutuuka ku ky’abantu abagwa ku bubanje.

Akulira enzirukanya y’emirimu mu ddwaliro lino, Moses Bwogi yategeezezza nti eddwaliro mu kiseera kino teririna waadi ya bagudde ku bubenje nga beeyambisa kifo ewatuukirwa abalwadde abava ewaka ekimanyiddwa nga OPD ekikosa empeereza y’emirimu eri abasawo n’okukaluubiriza abalwadde ssaako abajjanjabi.

Eddwaliro lya Mukono General Hospital.

Bwogi agamba nti eddwaliro liyingiza abagudde ku bubenje buli lunaku abali wakati w’omusanvu n’e kkumi, nga kino kiva ku kuba nti liri mu kibuga Mukono wakati ku luguudo mwasanjala oluva e Kampala okugenda e Jinja ng’era n’ababa bafunidde obubenje ku luguudo oluva e Mukono okugenda e Kayunga, ku luva e Wantoni-Mukono okugenda e Katosi nga zino zonna za kkoolansi we babasindika.

Mu bimu ku bikosa empeereza y’emirimu eri abagudde ku bubenje, Bwogi yanokoddeyo eky’okuba nti eddwaliro lirina obugaali (patient trolleys) bubiri bwokka kwe beebesa ababa bagudde ku bubenje naddala ababa balumiziddwa ennyo nga tebasobola kutambula sso nga buno bwe bumu babugabana ne waadi y’abakyala abazaala ssaako obugaali (wheel chairs) busatu bwokka nga ne buno babugabana ne waadi y’abakyala abazaala.

“Olw’abalwadde abangi ddala abajja mu ddwaliro lino buli lunaku, twandyetaaze ‘patient trolleys’ ekitono nnyo 10 ne ‘wheel chairs’ musanvu ezandibadde zitandikirwako. Olw’embeera eno gye tukoreramu, twesanga ng’abalwadde ababa bagudde ku bubenje abasinga obungi tubateeka mu ambyulensi ne tubongerayo mu malwaliro nga Kiruddu oba Mulago ne wankubadde ng’abasawo abakugu abandibadde babakolako omuli n’ab’amagumba eddwaliro libalina,” Bwogi bwe yannyonnyodde.

Ono ayongeddeko nti era eddwaliro teririna byuma byekebejja balwadde ababa bagudde ku bubenje okumanya obuvune bwe baba bafunye bwe bwenkana okuli ekya X-Ray ne CT Scan ng’eno okusinga ekebera ababa bafunye obubenje nga bakoseddwa ku mitwe.

Omulwadde ku kagaali nga bamutwala mu ddwaliro okujjanjabibwa.

Okwogera bino, Bwogi yabadde ayogera eri bannakyewa abavubuka abeegattira mu kibiina ekya Save a Youth (S.A.Y) abaabadde batongoza ekifo abantu we basalira oluguudo ekimanyiddwa nga ‘Zebra Crossing’ ekyasiigiddwa ku luguudo mwasanjala olwa Kampala-Jinja mu maaso g’eddwaliro lino.

Bwogi mu mbeera eno yasiimye minisitule y’eby’obulamu olw’okudduukirira eddwaliro n’emmotoka ya ambyulensi eyayongedde amaanyi mu kitongole ky’okwongerayo abalwadde ababa beetaaze obujjanjabi obusingawo nga kati eddwaliro liwezezza bbiri okugatta ku yasooka okugulibwa munisipaali y’e Mukono.

Naboth Nuwagaba, musirikale wa poliisi y’ebidduka.

Omusikale wa poliisi y’ebidduka, Naboth Nuwagaba eyakuliddemu enteekateeka y’okusiiga ‘Zebra crossing’ eno yagambye nti eno egenda kuyamba n’abasirikale b’ebidduka ababadde basanga obuzibu okusikangana ebitongi n’abavuzi b’ebidduka buli ku makya nga babayimiriza okuwa abalwadde naaddala abakyala b’embuto ekyanya okusala oluguudo okugenda mu ddwaliro okuweebwa obujjanjabi.

Nuwagaba era yategeezezza nti emirundi egimu bwe batwala mu ddwaliro abantu ababa bafunye obubenje batuukayo ng’obugaali kwe bayinza okubeebasa babatwale bakolebweko tebuliiwo ne bakaluubirizibwa n’asiima enteekateeka eziwomeddwamu omutwe aba Save a Youth n’agamba nti tezisaanye kukoma ku kusiiga ‘Zebra crossing’ wabula basale n’amagezi eddwaliro lifuneyo ku biyambako mu kudduukirira ababa bagudde ku bubenje.

Zebra crossing eyasiigiddwa ku luguudo olugenda e Jinja okusobozesa abalwadde okusola obulungi oluguudo nga bagenda mu ddwaliro.
.

Paul Ssenyonga akulira ekitongole kya Save a Youth yakunze abavubuka okukuliramu enteekaateeka y’okulwanyisa obubenje ku makubo nga balonkoma abavuzi b’ebidduka abayisa olugaayu mu bubonero bw’okumakubo okuli n’abatayagala kuyimrira ku ‘zebra crossing’ okusobozesa aab’ebigere okusala obulungi enguudo.

“Omulimu ffe tubadde tugukoze omuli n’okusomesa abavuzi ba bodaboda ku bulabe obuli mu kuvugisa ekimama, tuyambyeko okugula ebikozesebwa mu malwaliro n’ebirala, kati twewadde eddimu, mu myaka etaano ssinga gavumenti enaaba tevuddeeyo kuzimbiraa ddwaliro lino waadi y’abagudde ku bubenje, ffe tujja kusitukiramu tukungaanye ssente tugyezimbire,” Ssenyonga bwe yaategeezezza.

Isaac Ssebuliba nga y’omu  ku bali ku bboodi ya Save a Youth yeeyamye nga bwe bagenda okugulira eddwaliro obugaali mwe batambuliza abalwadde bubiri. Ssebuliba yasiimye gavumenti olw’okusuumusa eddwaliro lino, okulizimbamu ebizimbe eby’omulembe omujjanjabirwa n’okuddukanyizaamu emirimu n’asaba lyongerwemu abasawo abatuuka ku mutendera kwe liri n’okuteekamu ebikozesebwa omuli n’okuteekamu waadi y’abagudde ku bubenje ate erimu buli kyetaagisa.

“Kikyamu okuba ng’eddwaliro lirina obugaali bubiri ate nga buno bwe bukola ne mu waadi y’abakyala abazaala. Emirundi egimu kyangu akabenje okugwawo ng’ate obugaali bwonna buli mu waadi y’abazaala, olwo ababa bamenyese amagulu baba baakukolebwa batya!” Ssebuliba bwe yategeezezza.

Paul Ssenyonga, akulira Save a Youth ng’annyonnyola.

Okusinziira ku nsengeka ya Minisitule y’eby’obulamu nga bagoberedde amalwaliro amanene gonna mu ggwanga, Mukono General Hospital lyakwata kyakubiri mu kugaba obujjanjabi eri abantu okuddirira Kitgum General Hospital.

Bwogi (mu kijaketi) mu waadi ekola ng’eya OPD n’ewatuukirwa abagudde ku bubenje.

Bwogi yategeezezza nti eddwaliro omwaka gw’eby’ensimbi oguwedde lyawa ebitanda abalwadde 13,323, abalwadde 39,127 be baafuna obujjanjabi ne badda ewaka, abantu 20,202 baakeberebwa akawuka akaleeta mukenenya nga ku bano, 607 baazuulibwa nga balina akawuka era ne bateekebwa ku ddagala, abakyala 8,927 be baazaalira mu ddwaliro sso nga 3,833 be bakyala abaalongoosebwa nga bazaala. Bbo ba baama 29,511 be baagenda mu ddwaliro okunywa eddagala. Abalwadde 18 be baafa, sso ng’ate abakyala babiri bokka be baafa nga bazaala.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *