Omwami W’essaza Kaggo Alabudde Abazadde Okufaayo ennyo ku Baana

1 minute, 3 seconds Read

Bya Tonny Evans Ngabo

Omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Kyaddondo, Kaggo Ssalongo Matovu Ahmed Magandaazi alabudde abazadde ku nkuza y’abaana gy’agamba nti y’ensibo y’ebizubu ebifumbekedde mu ggwanga.

Kaggo okwogera bino yasinzidde Kirinya mu ggombolola ya Ssaabaddu-Kira bwe yabadde akulembeddemu emikolo gy’okutuuza omwami w’omuluka gwa Ssaaabagabo-Kirinya, Ssalongo David Ssekalega Ziriddamu n’asaba abazadde okukozesa ekiseera ky’oluwummula luno okutiisa abaana kumizze omuli ofunywa  enjaga, okwewala endwadde ez’ekikaba n’ebikolwa  ebirala.

Kaggo era yakuutidde abaami ba Ssaabasajja abalondeddwa okwewala okubungeesa amawulire agataliiko mitwe na magulu agatambuzibwa ku mikuttu gya yintanenti nga n’agamu gabeera gavvoola ekitiibwa ky’Obwakabaka .

Ate ye omwami w’eggombolola ya Ssaabaddu-Kira Ssekalegga Frank naye yasinziridde wano n’asaba abakulembeze abawereddwa obwami okutuukiriza obuvunanyizibwa obubakwasiddwa.

 

Mu ngeri y’emu ate ye Ssaalongo David Ziriddamu eyatuuziddwa ng’agenda okukulembera omuluka guno ogwa Ssabagabo-Kirinya agamba nti waakusoosowaza ensonga z’eby’obulamu , eby’emizannyo wamu n’okukunga abantu b’Omutanda okukola ennyo .

Mu balala abalondeddwa ye Mayanja Tom Kisekka nga ye mumyuka w’omwami w’omuluka guno n’abalala.

Ku mukolo gwe gumu, abantu abantu 40 baakwasiddwa ebyapa byabwe nga bano beegattira mu kibiina ekyatandikibwa mu muluka guno nga Ssaabaddu y’akikulembera.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *