Ssaabalabirizi Kazimba Ajaguzza Emyaka 40 mu Bufumbo Obutukuvu

4 minutes, 41 seconds Read

Bya Wilberforce Kawere

Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu ne mukyalawe Margret Naggayi bajaguzza emyaka 40 bwe ddu bukyanga bagattibwa mu bufumbo obutukuvu.

Bano beewuunyisizza abagenyi abaakungaanye okubajagulizaako olw’ekkula lino bwe baabagaanye okubawa ebirabo byonna ebikalu ebigenda eri bbo ng’abantu.

Ssaabalabirizi Kazimba ng’akumba ne Maama Margaret.

Bakazimba baasazeewo nti ebirabo byonna Abakulisitaayo n’abantu abalala ababaagaliza ebirungi bye bandibawadde ku mukolo guno, babaweemu ensimbi n’ebintu ebikalu ebikozesebwa mu kuzimba n’ekigendererwa eky’okuzimba ekkanisa empya galikwoleka eya St. Andrew’s Church of Uganda e Kawolo-Kitega mu Busaabadinkoni bw’e Lugazi mu bulabirizi bw’e Mukono.

Bino byabaddewo ku Ssande mu kusaba okwategekeddwa ba Kazimba okuddamu okukuba ebirayiro eby’obufumbo, nga balagaana okugenda mu maaso n’okwagalana mu bulamu, mu bulwadde, mu bulungi ne mu bubi, mu bwavu ne mu bugagga okutuusa okufa lwe kulibaawukanya.

Global Junior School Ushers Kids into New Year in Style While Unveiling New Campus

Ebirayiro bino baabikubye wakati mu kusaba okwakulembeddwamu omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo. Mu kkanisa eno eya St. Andrew’s, Bakazimba baategeezezza nti mwe baabagattira mu bufumbo obutukuvu emyaka 40 egiyise.

“Tusaba mwenna abazze ku mukolo guno nti mu kifo kya keeke oba ebirabo bye mwandituwadde enkumu ku kijaguzo kyaffe kino eky’emyaka 40 mu bufumbo, mutuweemu ensimbi enkalu n’ebikozesebwa mu kuzimba tusobole okuzimba ekkanisa empya eya St. Andrew’s Church of Uganda kuba eriwo mu kiseera kino ntono ddala bwogerageranya n’omuwendo gw’Abakulisitaayo abagisinzizaamu,” Ssabalabirizi Kazimba bwe yategeezezza.

Omulabirizi Kagodo ng’awa omukisa Ssaabalabirizi Kazimba n’aba ffamire.

Abakulisitaayo n’abantu abalala abeetabye ku mukolo guno ogwayindidde ku kkanisa ya St. Andrew tebaagyemedde Ssabalabirizi ne Maama Margaret era bano baabawadde ensimbi n’ebintu ebikalu ebibalirirwamu obukadde bw’ensimbi za kuno obusoba mu 150, nga ku nsimbi zino, ffamire ya Ssabalabirizi yataddeko obukadde 15.

Emikolo gyatandise na kusaba okwakulembeddwamu Omulabirizi Kagodo ng’ayambibwako abalabirizi abalala okuva mu kkanisa ya Uganda okwabadde omulabirizi wa Kampala Bp. Hannington Mutebi, Omulabiri wa Central Buganda eyawummula Bishop Jackson Matovu ssaako Omulabirizi w’e Mukono eyawummula Eria Paul Luzinda Kizito n’abaweereza abalala okuli; Provost wa Lutikko eya St. Philip and Andrew’s Cathedral e Mukono Rev. Godfrey Ssengendo, Ssaabadinkoni w’e Seeta Rev. Can. Edward Kironde Balamaze, Ssaabadiikoni w’e Lugazi Ven. David Mpagi n’abalala bangi.

Bwe yabadde abuulira, Ssentebe w’olukiiko oluli ku mulimu gw’okukulaakulanya ekiggwa ky’Abajulizi Abakulisitaayo e Nakiyanja-Namugongo, era omulabirizi wa Central Buganda eyawummula Bp. Jackson Matovu yeebazizza Ssaabalabirizi Kazimba olw’obuvumu bw’akozesezza okukulembera ekkanisa ya Uganda mu kiseera kino eky’okusomoozebwa kw’empisa ensiwuufu ez’Abazungu ezisensedde eggwanga okugeza ebisiiyaga oba omukwano ogw’ebikukujju.

“Nkwebaza nnyo ssebo Ssaabalabirizi olw’okuyimirira ku magulu go n’olwanyisa ebisiiyaga mu ggwanga, era twebaza Katonda akusobozesezza,” Omulabirizi Matovu bwe yategeezezza.

Bp. Jackson Matovu ng’abuulira.

Mu ngeri ey’enjawulo Omulabirizzi Matovu yeebazizza Ssaabalabirizi Kazimba olw’obutabeera na mululu n’obukumpanya ku mitendera egy’enjawulo egy’obukulembeze gy’azze aweererezaako mu kkanisa.

Ono era yasabye abaweereza bonna mu kkanisa okutwala eky’okulabirako kya Ssaabalabirizi Kazimba nabo baweereze nga ye n’okusingawo mu bwesimbu, empisa, obwerufu, n’obuntubulamu, obwesigwa, okwagala abantu, okukola ennyo, okubuulira enjiri ey’amazima era ey’ebikolwa n’obutenyigira mu bikolwa ebikontana n’ennono za Katonda.

Bbo abajaguza Ssaabalabirizi Kazimba ne Maama Margaret beebazizza nnyo Katonda olw’ebirungi enfaafa by’abatuusizzaako mu myaka 40 mu bufumbo obutukuvu omuli okubawa ezzadde ery’abaana bana ab’obulenzi wamu n’abazzukulu, okubalinnyisa amadaala mu buweereza ne batuuka ne ku ddaala ly’obwa Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Abakulisitaayo okubalaga essanyu n’okubaagala yonna mu makanisa gye bayise nga baweereza n’ebirala.

“Tubadde n’ebisomooza bingi nnyo okutuuka ku myaka gino 40 mu bufumbo naye abadde Katonda yekka atuyambye okuwangula (Yokaana 16:33)”, Ssabalabirizi Kazimba ne Maama Magaret bwe baategeezezza.

Bakazimba, aba ffamire n’abagenyi abalala nga basala kkeeki.

Kinajjukirwa nti abafumbo bano Ssaabalabirizi Kazimba ne Maama Margret baagattibwa mu kkanisa eno eya St. Andrew’s Church of Uganda e Kawolo-Kitega mu busaabadinkoni bw’e Lugazi mu bulabirizi bw’e Mukono nga  January 7, 1984 ngaaa Rev. Canon Christopher Musimbi Wataka ye yabagatta.

Maama Margaret Kazimba yeebaziza bonna ababagabiridde n’ababalambudde naddala yonna gye bayise nga baweereza. Ono era yasabye abantu okusabiragana nga bulijjo mu maka, okusoma ebyawandikibwa n’okubigondera kubanga nabo ebyo bye bibabedde okutuuka we bali olunaku lwa leero.

Ate omubaka wa palamenti  akiikirira munisipaali y’e Lugazi, Stephen Sserubuula Kinaalwa yeebaziza Ssaabalabirizi Kazimba olw’okubalowozaako nga banna Lugazi n’asalawo okugenda ewaabwe gy’aba ajaguliza omukolo guno ogw’ebyafaayo ng’akuza emyaka 40 mu bufumbo obutukuvu.

Sserubula era yasiimye Bakazimba omulimu ogw’okutandika okuzimba ekkanisa empya eya St. Andrew’s, bwatyo n’akubiriza abantu okuwaayo ku nsonga eno. Ng’omubaka w’abantu, Sserubula awaddeyo ensimbi obukaadde buna eza Uganda okusobozesa okuzimba ekkanisa enaweesa Lugazi ne Ssabalabirizi Kazimba ekitiibwa.

Oluvanyuma lw’okusaba kuno, Ssaabalabirizi Kazimba ne Maama Margret baatemye evvuunike ewagenda okuzimbibwa ekknisa empya galikwoleka mu kifo kino era ng’eno yaakuwemmenta obuwumbi bw’ensimbi za kuno bubiri n’ekitundu nga yaakutwala ekiseera kya myaka etaano ng’ezimbibwa.

Ssaaabalabirizi Kazimba ne Maama Margaret, Bp. Kagodo n’aba ffamire abalala mu kifaananyi ekya wamu.

Omusumba w’obusumba bw’e Kawolo-Kitega mu bussabadinkoni bw’e Lugazi Rev. Kakula Titus yeebazizza Ssaabalabirizi Kazimba ne Maama Margaret olw’okujjukira ekkanisa mwe baagattibwa mu bufumbo obutukuvu ne basalawo okukulemberamu kaweefube ow’okuzimba ekkanisa empya ey’ekitebe ky’obusumba buno oluvannyuma lw’okukizuula ng’enkadde efunze tekyamala.

Rev. Kakula era akoowodde Abakulisitaayo bonna n’abagaliza ekkanisa ebirungi okujja okuwagira omulimu guno.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *