Samuel Omazare mu kabangali ya poliisi lwe yakwatibwa.

Eyabba Ssente za SACCO Y’abasuubuzi Addiziddwa mu Kkomera e Kauga

2 minutes, 55 seconds Read

Kkooti e Mukono egaanye okukkiriza okusaba kw’omusajja agambibwa okubba ssente za SACCO y’abasuubuzi e Mukono ezisoba mu bukadde 800.

Samuel Omazare nga ye yali akulira UPENDO Market Vendors Multipurpose SACCO eyali ekakkalabiza emirimu mu katale ka Kame Valley Market e Mukono y’awerennemba n’omusango gw’okubba ssente z’abasuubuzi ze baali baterekedde omwaka mulamba n’okusoba.

Omazare yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka mu kkooti e Mukono, Moses Otim n’asaba okweyimirirwa wabula omulamuzi n’agaana okumukkiriza bwatyo n’amusindika addeyo mu kkomera e Kauga agire ng’aky’alya ku nnimire.

Omulamuzi Otim yamuwadde ennaku z’omwezi nga January 24, lw’anaddamu okuwulira okusaba kwe asalawo oba yeeyimirirwa oba nedda.

Ku Lwokusatu, omuwaabi wa gavumenti Kennedy Kubokwa yataddemu empoza ye mu kwanukula kw’ebyo puliida wa Omazare, Albert Omwoli kwe yali yateeka mu kkooti ng’ayagala omuntu we ayimbulwa ku kaakalu ka kkooti kuba omusango ogumuvunanibwa ssemateeka amukiriza okweyimirirwa.

 

Abamu ku basuubuzi mu kkooti ng’okuwulira omusango kugenda mu maaso.

Kubokwa yawadde ensonga ez’enjawulo ng’asaba omulamuzi aleme kuyibula Omazere okuva mu kkomera  omuli okuba nti  okukwatibwa kwe baali bamutaasa ku bantu abaali baagala okumugajambula nti singa ayimbulwa ate obulamu bwe bujja kubeera mu matigga.

N’olw’ekyo Kubokwa yafundikidde asaba kkooti egire ng’ekyakuumidde  Omazare mu nkomyo nga n’okunonyereza bwe ku kyagenda mu maaso. Ensonga endala, agamba nti engeri avunaanibwa gy’ali ssentebe wa SACCO eno ate nga n’abalala abavunaanibwa bakyaliira ku nsiko, nti ssinga ateebwa asobola okuddayo mu w’ofiisi eno n’abaaako ebiwandiiko by’ajjamu ekintu ekigenda okutaataaganya okunonyereza.

Kubokwa yongeddeko nti olw’okuba abantu  abamuvunaaana basoba mu 200 nga bano be baali batereka naye ensimbi zaabwe, ate nga bonna mu kiseera kino essuubi libali mu lusuubo eky’okumuwa akakalu ka kkooti abasuubuzi bagamba nti bagya kuba tebafunye bwenkanya.

“N’abazze okumweyimirira tebaleese bintu bya nkizo omuli ebyapa, kkaadi z’emmotoka oba passport zaabwe  ebiraga nti balina obusobozi. Era bino birina kuba mu mannya gaabwe. N’olw’ekyo, nsaba kkooti eno Omazare addizibwe mu kkomera ng’okunoonyereza bwe kuggwa omusango gutandike okuwulirwa.

Ye mu kwanukula looya wa Omazare Albert Omwoli awakanyizza ebisabiddwa omuwaabi wa gavumenti n’ategeeza nga bw’abadde talina tteeka we yeesigama kuba okwogera obwogezi n’ategeeza ng’omuwawaabirwa bw’alina eddembe lye okweyimirirwa erimuweebwa ssemateeka.

Omwoli yanokoddeyo emisango egy’enjawulo omuli ogwa ba Minisita abali mu nsonga z’okubba amabaati g’e Karamoja,  eyaliko omumyuka w’omukulembeze we ggwanga Gilbert Balibaseka Bukenya, Chandi Gyamwa n’amirala nti bano yadde emisango gyabwe gyali minene naye kkooti yabakkiriza okuyimbulwa ku kakalu kaayo.

Oluvannyuma lw’okuwulira enjuyi zonna, omulamuzi Otim yawadde olwa nga January 24 nga lw’ajja okuwa ensala ye ku kuyimbulwa kwa Omazare.

Bo abasuubuzi baasanyukidde  eky’omulamuzi okugira ng’azzizzaayo Omazare mu kkomera ne bategeeza nga bwe batandise okulaba essuubi ly’okufuna obwenkanya mu musango guno.

Abamu ku basuubuzi nga bafulumye mu luggya lwa kkooti.

Wabula abalala baategeezezza ng’eky’okusiba Omazare bwe batakifunamu nga baagala ssente zaabwe kuba baagala kuzzaayo baana baabwe mu masomero. Bano era baakukkulumidde abakulembeze baabwe mu katale, ku Mukono Central Divizoni ne munisipaali olw’obutabayamba.

Baakoowodde eyaliko meeya w’ekibuga ky’e Mukono, Johnson Muyanja Ssenyonga okujja abayambe mu kaseera akazibu ke balimu nga bagamba nti ye yali amanyi ennaku abasuubuzi mwe bakolera okufuna ekikumi.

 

 

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *