Disitulikiti y’e Luweero Etubidde N’ensimbi Ez’okugula Ebikozesebwa mu Kufukirira

2 minutes, 58 seconds Read

Bya Wilberforce Kawere

Abakozi ba gavumenti mu disitulikiti y’e Luweero bakyasobeddwa eka ne mu kibira olw’abalimi abakyabaziriridde ensimbi gavumenti ze yabawa eziri mu buwumbi obusoba mu bubiri okubayamba okugulamu ebyuma ebikozesebwa mu kufukirira ebirime.

Okusinziira ku mumyuka w’akulira abakozi ba gavumenti mu disitulikiti y’e Luweero, Henry Musisi, balina ensimbi eziri eyo mu buwumbi bubiri gavumenti z’ezze ebawa mu nteekateeka y’okutumbula enkola ey’okufukirira ebirime emanyiddwa nga Micro Scale Irrigation evvujjirirwa bbanka y’ensi yonna ng’abalimi bakyesulubabbye okusaba ensimbi zino.

Abalimisa okuva mu disitulikiti y’e Luweero nga baliko bye bayiga mu lusuku lwa Namazzi lw’afukirira nga yeeyambisa ebyuma eby’amaanyi g’enjuba. Ku kkono y’amyuka CAO w’e Luweero Musisi.

Buli mulimi aweebwa ebyuma ebikozesa amaanyi g’enjuba mu kufukirira ebirime ebibalirirwamu obukadde bw’ensimbi 25 wadde ng’aba alina okusooka okusasulayo obukadde butaano bwokka mu buliwo.

Wabula wadde guli gutyo, Musisi agamba nti ku magombolola 18 agakola disitulikiti y’e Luweero, nga balinako amagombolola okuli Kamira, Ziroobwe, Kikyusa, Butuntumula n’amalala agakosebwa ennyo ekyeya n’ebisolo ne bituuka okufa nga bano ssinga banaaweebwa ensimbi ne bagula ebyuma ebiyambako mu kufukirira, embeera y’omusana bajja kuba baginogedde eddagala.

NCDC Develops New ECD Curriculum Ready for Rollout Next Year

Bino byatuukiddwako abakulira eby’obulimi n’obulunzi mu magombolola 18 aga disitulikiti y’e Luweero bwe baabitaddemu engatto ne boolekera disitulikiti y’e Mukono ekyasinze okukola obulungi mu nteekateeka eno eya Micro Scale Irrigation mu Uganda yonna.

Dr. Fred Mukulu akulira ekitongole ky’eby’obulimi, obulunzi n’obusuubuzi ng’ali wamu n’abalimisa ab’enjawulo abakungu b’e Luweero babayisizza mu kawonvu n’akagga ak’enteekateeka ez’enjawulo ne bamala ne babalambuza n’abalimi ab’enjawulo abaganyuddwa mu nteekateeka eno.

Ebyuma ebikozesa emaanyi g’enjuba Namazzi by’akozesa okufukirira ebitooke n’ebirime ebirala.

Dr. Wilberforce Ssemigga, akulira eby’obulimi n’obulunzi mu disitulikiti y’e Luweero yategeezezza nti kikwasa ennaku okulaba nga disitulikiti y’e Luweero eyali yaweebwa ensimbi ezisoba mu buwumbi obubiri omwaka gw’eby’ensimbi oguwedde, ensimbi zino zaagirema okukozesa ne bazizzaayo mu kittavvu kya gavumenti.

Ssemigga annyonnyodde nti wadde disitulikiti y’e Mukono erina abalimi 136 abamaze okuganyulwa mu nteekateeka eno, bbo nga Luweero balina abalimi 30 bokka mu kiseera kino.

Dr. Wilberforce Ssemigga okuva e Luweero ng’aliko by’alambulula.
(EKif. Henry Nsubuga)

Dr. Mukulu ow’e Mukono agambye nti bbo kye baakola, wadde gavumenti ebasuubira mu nteekateeka eno omulimi agenda okuweebwa ebyuma ebikozesa amaanyi g’enjuba mu kufukirira ebibalirirwamu ensimbi obukadde 25 ng’alina kusooka kusasula obukadde butaano ez’obuliwo, bbo baasaba era ne bakkirizibwa abalimi basasule mu bitundu ekibayambye okutambula.

Dr. Fred Mukulu akulira ekitongole ky’eby’obulimi, obulunzi n’obusuubuzi mu disitulikiti y’e Mukono.

Omu ku balimi abaganyulwa mu nteekateeka eno Rosemary Namazzi Kyaka omutuuze w’e Kibooba mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono atunnyonnyodde nti ye amazzi gano agakozesa mu kufukirira ennyaanya z’alima, ebitooke, kasooli n’okulunda enkoko n’embizzi.

Namazzi agamba nti amazzi kyali kizibu nnyo gy’ali ng’ekidomola akigula nnusu lukaaga ng’okuva lwe yafuna enteekateeka eno, obulamu bwayongera okumugondera.

Abalimisa okuva mu disitulikiti y’e Luweero nga bali ku byuma ebikozesebwa mu kufukirira ewa Namazzi e Kibooma mu Nama-Mukono.

Namazzi (ku ddyo) omulimi eyaweebwa ensimbi ezaagula ebyuma ebifukirira ng’aliko by’annyonnyola ab’e Luweero mu nnimiro ye ey’ebitooke.

 

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *