Abatuuze Beekokkodde Abachina Abayasa Amayinja-Gajjamu Abakyala Embuto

1 minute, 15 seconds Read

Bya Tony Evans Ngabo

Abatuuze okuva ku byalo bisatu okuli Bumera, Buteregga, Busawuli ne Kkongojje, mu gombolola ye Mende mu disitulikiti y’e Wakiso  basobeddwa ekka  ne mu kibira  olwa kkampuni y’Abachina eyasa  amayinja eya  King Long gye bagamba nti ebamazeeko emirembe n’okukaluubiriza obulamu mu byalo kwe bawangaalira.

Bano beemulugunya nti mu kwasa amayinja gano olw’okuba ekirombe kiri kumpi n’amaka g’abantu, mbu abakyala bazze bavaamu embuto ng’era beemulugunya mu ba kkampuni n’abakulembeze wadde nga tebayambibwa. Bano bagamba mbu abaami tebakyalina maanyi ga kisajja,  enyumba ne zi kaabuyonjo zaabwe zirimu enjatika, oluffufugge olw’amaanyi ku birime byabwe nga kwossa n’okubeera ku bunkenke obutagambika.

Abatuuze bano era balumirizza  abakulu abatwala kkampuni eno wamu ne ssentebe w’ekyalo obutabafaayo nga buli lwe babatuukirira okubannyonnyola ekibatuuseeko badda mu kubajereegerera wamu n’okubatiisatiisa okubakwata babasibe era wano we bawanjagidde abakulembeze ku mitendera egya waggulu okuvaayo babataase ekibambulira kino.

Wabula mu kwogerako ne ssentebe w’ekyalo kino ekya Buteregga, Kawagga Edward asambazze ebimwogerwako nga bwe yalya  ssente ne yeekobaana n’Abachina okuliisa  abatuuze akakanja. Ssentebe Kawagga agambye nti ago bamusibako matu ga mbuzi kwagala kumuliisa ngo.

Mu kwongerako ne maneja wa kkampuni eno eya King Long gwe tutegeddeko erya Tang agambye nti kkampuni yaweebwa olukusa  okuva mu kitongole kya NEMA okukakkalabya emirimu.

Wabula Tang naye alumirizza  abamu ku batuuze bano nga bwe beeyonoonera ebintu byabwe n’ekigendererwa  eky’okumumetta enziro wamu n’okwagala okubasasula ensimbi.

 

 

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *