Ssentebe Bwanika Yeeweredde Abazadde Abatasasulira Baana Bisale Bya Masomero

1 minute, 25 seconds Read

Bya Tony Evans Ngabo

Oluvannyuma lw’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB okufulumya ebyava mu bigezo bya S.4 wiki ewedde nga disitulikiti y’e Wakiso ereebezza disitulikiti endala, abakulu b’amasomero wamu n’abakulembeze bagamba ekyo kikyali kituuza, mubalinde ne mu bya S.6 n’omwaka ogujja. 

Bano bagamba nti bagenda kwongera amaanyi mu masomero n’agabadde gakyali wansi mu mutindo geeyongere okusituka olwo zi disitulikiti nga Mukono ne Kampala ezibadde zitera okweriijja ku Wakiso baakuzikubya kaga.

Bwe yabadde aggalawo olukungaana lw’abakulu b’amasomero ga gavumenti wamu n’ag’obwananyini ku Wakisha Resource Center, ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr Matia Lwanga Bwanika yagambye nti tebagenda kukkirizza muntu yenna ajeemesa bazadde kusasulira baana baabwe bisale bya kyamisana ku masomero, yunifoomu n’engatto.

Bwanika agamba nti abakuma omuliro mu bazadde obutawa baana baabwe bya kulya ku masomero be baviiriddeko omutindo gw’ebyenjigiriza okwongera okusereba mu bitundu eby’enjawulo naddala eby’e byalo ky’atagenda kukkiriza kubeerawo mu kiseera nga ye ssentebe w’e Wakiso.

Ssentebe Bwanika era yasabye abakulira amasomero obutafa kisiiri nga waliwo ensonga ezibasoomozo wakati waabwe n’obukiiko obuddukanya amasomero kubanga baakizudde nga bwe waliwo amasomero agagudde nga obuzibu buvudde ku bakulu mu nzikiriza abaatandika amasomero gano okusaawo obusongasonga obutaliimu n’asaba be kikwatako okubatuukiria okusinga okusirikira eyo ng’embeera eyongera kusajjuka.

William Bwambale akulira ekibiina ekigatta abasomesa ekya UNATU mu disitulikiti y’e Wakiso yasabye abazadde okwongera okukwatira awamu n’abasomesa basobole okwongera amaanyi mu by’enjigiriza nga kati bagenda kutandika okusisinkana abazadde bababuulire kaati ku birina okukolebwa okusobola okusitula omutindo gw’eby’enjigiriza mu disitulikiti eno.

RDC w’e Wakiso, Justine Mbabazi mu bubaka bwe yatisse omukwanaganya wa poliisi n’omuntu wa bulijjo Kakooza Ali yasabye abakulembeze b’amasomero okwongera amaanyi mu by’okwerinda by’amasomero nga beewala okussaawo abaakuumi abatatendekeddwa okukuuma amasomero gaabwe ky’agamba nti kino kiviiriddeko amasomero mangi okukukolebwako obulumbaganyi obufiiriddemu n’abantu.

 

 

 

 

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *