Okusenda Ebisaawe By’amasomero Kikosa Eby’emizanyo mu Ggwanga-Bwanika

1 minute, 12 seconds Read

Bya Tonny Evans Ngabo

Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr. Matia Lwanga Bwanika alaze okutya nti wandibaawo ekkobaane ery’okutta eby’emizannyo mu ggwanga okuggwerawo ddala.

Bwanika agamba nti mu mbeera ng’abantu beefunyiridde ku kusanyaawo ebisaawe by’amasomero ga gavumenti mu ggwanga nga bwe bazimbako zi akeedi, kiba kiteeka mu  katyabaga ebiseera by’eby’emizannyo by’eggwanga lino eby’omu maaso.

“Ebitone bizuulibwa kuva buto ng’abaana bali ku masomero ne babirera ne bigenda nga bikula olwo ne tufuna bannabyamizannyo ab’amannya nga ba Denis Onyango n’abalala. Bwe tujjawo Ebisaawe abaana mwe bayinza okuzannyira omupiira, okudduka n’ebirala, olwo kijja kuba kizibu okubeera ne bannabyamizannyo mu myaka egy’omu maaso,” ssentebe bwe yategeezezza.

Bino Bwanika yabituseeko bwe yabadde ku kitebe kya Town council y’e Katabi ng’akwasibwa ebikopo ebyawangulwa ttiimu ya disitulikiti mu mpaka z’eby’emizannyo mu masomero ga pulayimale ezaali mu kibuga ky’e Mbarara nga disitulikiti y’e Wakiso y’e yaziwangula.

Bwanika agamba nti singa minisitule y’eby’enjiriza n’eby’emizannyo tevaayo n’erungamya ku nsonga eno, eggwanga lyolekedde akaseera akaakatyabaga.

Ssentebe Bwanika era agambye nti essuubi ly’eggwanga ery’omumaaso liri mu basomesa ssinga bavaayo nabo ne beenyigira butereevu mu bifo eby’obukulembeze.

Meeya w’ekibuga ky’Entebbe Kalema Basamul’ekkere asabye abavubuka Katonda b’awadde ekitone okukigattako ate ebitabo basobole okuwangula obulungi.

Wabula mu ngeri endala, Ssalongo Daniel Kabanda eyakulemberamu abayizi bano okugenda e Mbarara agamba nti baayita mu kaseera akazibu mu by’entambula n’okwambaza abazannyi oluvannyuma lw’abakulembeze obutabayambako.

Nasejje Gorret Lumala amyuka ssentebe w’ekibiina ekigatta abasomesa ba pulayimale mu Wakiso ekya WAPISHA agamba ekibayambyeko okusukkuluma n’eby’emizannyo kwe kubeera nga bakolera wamu ng’abassomesa.

 

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *