Ebisuuse Kw’abadde Akulira Abakuumi ba Kabaka Eyadduse Bitiisa-Yatabuka ne Bakamaabe E Mmengo Okuva Kabaka lwe Yalwala

1 minute, 7 seconds Read

Oluvannyuma lw’okufulumya eggulire ely’okubulawo kw’abadde akulira abakuumi ba Kabaka, munamagye Capt. Edward Ssempijja, Olupapula lwa Bukedde lwongedde okuzuula bwiino akwata ku nsonga eno.

Bukedde olwaleero olw’okutaano nga May 17, 2024 awandiise n’alaga nga Capt. Ssempijja bwe yalinnya ennyonyi nga mu kiseera kino ali Canada gy’ali mu kugoba ku mpapula ezimubeeza mu nsi eyo nga taliiko amukuba ku mukono.

Ssempijja yasuddewo omulimu n’adduka nga tategeezezza ku bakamaabe ab’e Mmengo oba ab’eggye lya UPDF ng’omwogezi w’eggye lya UPDF, Brig. Gen. Felix Kulaigye yategeezezza nga bbo bwe batamanyi ku mayitire ga Ssempijja era nti bamunoonya.

kigambibwa nti wabaddewo obutakkaanya wakati wa Ssempijja ne bakamaabe ab’e Mmengo okuva embeera ya Kabaka lwe yatabuka.

Ssempijja nga munnamagye ali ku nnamba RO/13048 y’abadde akulira eggye erikuuma Kabaka erya Kabaka Protection Unit (KPU). Ono agambibwa okugenda ne Kabaka e Bulaaya gy’abadde mu kujjanjabibwa kyokka nti yamulekayo n’akomawo kuno nga wano we yava n’ayolekera e Canada mu kiseera kino gy’ali mu kukola ku mpapula ezimubeeza e Canada oba mu Amarica nga talina kutataaganyizibwa.

Ssempijja ku mulimu gw’okukulira eggye erikuuma Kabaka yasikiziddwa Capt. Christopher Lutwama ali ku nnamba RC/13174.

*Bisimbuliziddwa okuva mu lupapula lwa Bukedde*

The post Ebisuuse Kw’abadde Akulira Abakuumi ba Kabaka Eyadduse Bitiisa-Yatabuka ne Bakamaabe E Mmengo Okuva Kabaka lwe Yalwala appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *