Abayivu Basabiddwa Obuteesamba Nsonga Zaakulwanirira Ddembe lya Buntu

1 minute, 22 seconds Read

Abayizi ku yunivasite ez’enjawulo basabiddwa okukulemberamu kaweefube w’okulwanirira eddembe ly’obutundu erisisse okutyoboolebwa mu ggwanga ensangi zino baleme nsonga eno kugirekera bannabyabufuzi bokka n’ebitongole eby’obwannakyewa.

Bino byabadde mu kutongoza alipoota ey’okuna  ey’akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Wakiso eya 2023 ku Makerere University, School of Veterinary Medicine ng’alipoota y’omulundi  guno ebadde ku mulamwa ogw’okwongera amaanyi mu ddembe ly’obulamu, obuweereza mu bantu wamu n’eddembe ly’emmere.

Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, omukugu mu nsonga z’okulwanirira eddembe ly’obuntu n’obutonde,  Dr Matia Lwanga Bwanika agamba nti ebimu ku biviiriddeko eggwanga okubeera mu bizibu  ebitaggwa  ge matendekero  nga Makerere University okutandika okwesamba ensonga ezikwata ku bulamu bw’abantu.

Principal wa Makerere School of Veterinary Medicine, Prof. Mwiine Frank yategeezezza nga kati bwe bagenda okufuba okulaba nga ssetendekero wa Makerere yeenyigira butereevu mu kulwanirira ensonga ezinyigiriza omuntu wa bulijjo naddala okulwanirira obutonde bw’ensi nga wano baakutuukira ddala ku buli muntu avunanyizibwa.

Bonabye Kamaadi ddayirekita avunanyizibwa ku nsonga z’okunoonyereza mu kitongole kya Uganda Human Rights Commission (UHRC) yategeezezza ng’ekitongole kino bwe kyamaliriza okukwatagana ne minisitule ya gavumenti ez’ebitundu okulaba nga disitulikiti zonna ziteekesa mu nkola obukiiko obuvunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu nga disitulikiti y’e Wakiso bwe yakola.

Ye ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Wakiso, Elly Kasirye yagambye nti alipoota y’omulundi guno essira baalitadde nnyo ku by’obulamu kubanga baakizudde nti amalwaliro agasinga gali mu mbeera mbi ate nga waliwo n’agamu agaazimbibwa nga tegaliiko bifo byanguyizaako bantu abalima obulamu ku mibiri okufuna obuweereza obulungi.

The post Abayivu Basabiddwa Obuteesamba Nsonga Zaakulwanirira Ddembe lya Buntu appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *