Kitalo! Omuzira mu Bazira wa Radio CBS Afudde!

Bannakyaggwe baguddemu ekikangabwa,  oluvannyuma lw’okufa kw’Omuzira mu Bazira owa Radio Y’obujjajja CBS FM. Kalema Kalikyejo ye Muzira mu Bazira owa Pulogulaamu Entanda ya Buganda eweerezebwa ku Radio CBS FM ng’ono ye w’omwaka 2006. Kalikyejo yafiiridde mu ddwaliro e Mukono nga abadde awangaalira ku kyalo Kayanja-Nnamataba ekisangibwa mu disitulikiti y’e Mukono. Ku kyalo Kayanja kuno, ku […]

Fr. Kabenge Asabye Abagenda Okukola PLE Babakwase Katonda si Ssitaani

Ng’abayizi ba P.7 beeteekateeka okukola ebigezo byabwe ebya PLE ebinaatandika nga November 8 biggwe nga November 9, abazadde abatakkiririza mu Katonda baweereddwa amagezi ogukoma ku kusasulira abaana baabwe ebisale by’essomero babawe n’ebikozesebwa ebisigadde bamale babaveeko. Fr. Simon Peter Kabenge bano abawadde gaabuwa nti tebasaanidde kumala biseera mbu ate batwalira abaana baabwe obuti n’ebyawongo ebirala mbu […]

Bp. Kagodo akoze enkyukakyuka mu Basumba e Mukono

Omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo yalangiridde enkyukakyuka mu basumba n’abaweereza abalala ab’ekkanisa mu bulabirizi bw’e Mukono. Enkyukakyuka zino omulabirizi yazirangiriridde mu kkanso y’obulabirizi ey’omulundi ogw’e 63 eyatudde mu Bp. Ssebaggala Synod Hall ku Lwokuna. Eno ye kkanso ya Bp. Kagodo ey’okubiri gy’akubirizza bukyanga atuuzibwa ng’omulabirizi w’e Mukono ow’okutaano nga 25/2/2023 ng’ono yasikira Bp. James […]

Embaga y’ebyafaayo yiino-Omusajja bamuwooye ne hakki ze musanvu!

Ebyafaayo nga bwe bitaggwa mu nsi, omusajja wuuno akoze ebyafaayo olwaleero bwe bamuwooye ne bakyalabe musanvu be ddu. Ono yasoose kubanjula omu kw’omu ng’ababiri ku bano baaluganda omu yadda ku munne nga yabayanjulidde mu maka ga kitaabwe mu kwanjula era okwabadde okw’ebyafaayo. Bino bibadde ku kyalo Namasengere mu Nakifuma mu disitulikiti y’e Mukono ng’ab’eno bawuniikiridde […]

Ono Nsikonnene tawena-bamuwooye n’abakazi musanvu!

Ekyalo Namasengere mu Nakifuma mu disitulikiti y’e Mukono kiwuniikiridde omusajja Ssaalongo Habib Nkokonnene bw’atandise okuyisa ebivvulu ng’ayolekera omuziki ne bakyalabe musanvu b’agenda okuwoowebwa nabo. Omukolo guno guyindira ku kyalo Mugereka ekisangibwa mu ssaza ly’e Nakifuma, kinnya na mpindi n’ekyalo Namasengere kabwejumbira Nsikonnene kwe yazimba amaka ag’ebyafaayo mw’abeera ne bakyalabe omusanvu. Abantu abawerera ddala beesombye okubeerawo […]

Gravity Alabudde Abawagizi Abakyusakyusa Ennyimba ze ne Baziwemuliramu!

Omuyimbi Gravity Omutujju akooye abantu abamusibako eky’okubeera omuwemu era nti n’ennyimba ze ziwemula! Ono agamba nti ennyimba ze teziwemula ate naye kennyini tawemula wabula abamu ku bawagizi be bakola ensobi bwe badda ku nnyimba ze ne bazikyusakyusa ne baziggyamu amakulu amalala ate ne bakisiba ku ye mbu awemula, ky’agamba nti si kituufu. Omutujju Omukujjukujju nga […]

Maama W’omwana Wange Olwamukyawa N’anjokya Acid!

Eyali omusuubuzi w’eby’ennyanja omwatiikirivu mu bizinga by’e Koome mu disitulikiti y’e Mukono g’akaaba g’akomba oluvannyuma lw’omukazi gwe yazaalamu omwana n’amala n’amukyawa olw’obuyombi okumuyiira ‘acid’. Ssaalongo Yasin Lukwago (39) ye yeekokkola maama w’omwanawe Barbra Najjuka bwe baali babeera ku kizinga ky’e Ddamba mu ggombolola y’e Kkoome mu Mukono wabula bwe yamukya n’amulukira olukwe n’amuyiira ‘acid’. Lukwago […]

EBYAFAAYO KU MMAMBA – LUNGFISH (Protopterus Annectens)

EBYAFAAYO KU MMAMBA – LUNGFISH (Protopterus Annectens) ● Emmamba esobola okubeera mu kifo ekimu nga terya era nga tenywa okumala emyaka etaano (state of Aestivation) ● Emmamba erina gills ate ne lungs ekigisobozesa okussizza mu mazzi ne ku lukalu. ● Emmamba ery’omuddo, ebikere, amakovu n’obwennyanja obutonotono. ● Emmamba ewanvuwa okutuukira ddala ku fuuti ttaano oba […]