Ssaabalabirizi Kazimba Ajaguzza Emyaka 40 mu Bufumbo Obutukuvu

Bya Wilberforce Kawere Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu ne mukyalawe Margret Naggayi bajaguzza emyaka 40 bwe ddu bukyanga bagattibwa mu bufumbo obutukuvu. Bano beewuunyisizza abagenyi abaakungaanye okubajagulizaako olw’ekkula lino bwe baabagaanye okubawa ebirabo byonna ebikalu ebigenda eri bbo ng’abantu. Bakazimba baasazeewo nti ebirabo byonna Abakulisitaayo n’abantu abalala ababaagaliza ebirungi bye bandibawadde […]

Bp. Kagodo Acoomedde Abakulembeze ba Disitulikiti y’e Mukono Olw’obutatuukiriza Buvunaanyizibwa

Bya Wilberforce Kawere Omulabirizi w’e Mukono Enos Kitto Kagodo acoomedde abakulembeze n’abaddukanya disitulikiti y’e Mukono olw’okulemererwa okutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe. Omulabirizi Kagodo abadde ku kitebe kya disitulikiti nga yeetebye mu kulonda olukiiko oluteekateekera n’okukulaakulanya disitulikiti olumanyiddwa nga Mukono Development Forum (MDF), n’agamba nti ekitundu kino n’okusingira ddala ekibuga Mukono kikyali mabega nnyo mu by’enkulaakulana bw’ogeraageranya ne […]

Gen. Katumba Akyatenda Katonda Okumusimattusa Amasasi

Gen. Edward Katumba Wamala ne gye buli eno bw’ajjukira engeri gye yasimattuka amasasi ne kiba nga we butuukidde olwaleero ng’enkuyege zikyamukubira enduulu, agamba nti talema kufukamira n’asabako n’okwebaza Katonda kuba tebwali busobozi bwe ng’omuntu wabula ekisa ky’oyo eyamutonda. “Bannange mmwe okuba nga mundabako olwaleero ne njogera gye muli, tebwali busobozi bwange kuba mbu ndi munnamagye […]

Bp. Kagodo akoze enkyukakyuka mu Basumba e Mukono

Omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo yalangiridde enkyukakyuka mu basumba n’abaweereza abalala ab’ekkanisa mu bulabirizi bw’e Mukono. Enkyukakyuka zino omulabirizi yazirangiriridde mu kkanso y’obulabirizi ey’omulundi ogw’e 63 eyatudde mu Bp. Ssebaggala Synod Hall ku Lwokuna. Eno ye kkanso ya Bp. Kagodo ey’okubiri gy’akubirizza bukyanga atuuzibwa ng’omulabirizi w’e Mukono ow’okutaano nga 25/2/2023 ng’ono yasikira Bp. James […]

Mbaziira Ow’eby’ettaka e Mukono Asuze mu Kkomera

Ofiisa omukulu mu woofiisi y’eby’ettaka e Mukono akwatiddwa n’aggalirwa ng’entabwe eva ku mivuyo mu woofiisi y’eby’ettaka e Mukono. Robert Mbaziira y’akwatiddwa ku biragiro bya minisita omubeezi ow’eby’ettaka, Sam Mayanja mu lukiiko lwa bbalaza lw’atuuzizza e Mukono ku kitebe kya disitulikiti. Mbaziira okukwatibwa kiddiridde okumala ebbanga ng’abantu ab’enjawulo bajja baamwemulugunyaako ku bigambibwa mbu y’omu ku bali […]