Bataano Ababadde Bava ku Kabaga mu Ssabo Bagudde mu Nnyanja ne Bafa

Abantu bataano ababadde basaabalira mu lyato ku nnyanja Nalubaale mu bizinga by’e Buvuma nga bava ku kabaga ak’okwekulisa okuyita mu mwaka n’okwewonga olw’omwaka omupya bagudde mu nnyanja ne bafa. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu ttundutundu lya Ssezibwa, Hellen Butoto, 14 kw’abo bannyuluddwa mu nnyanja ne baddusibwa mu ddwaliro ly’e Bugaya gye bali mu kufuna […]